Description
OBUSIRAAMU DDIINI YA MULEZI WA BITONDE BYONNA
Ebivvunuddwa ebirala 50
MU LINNYA LYA ALLAH OMUSAASIZI OW'EKISA EKINGI
Kino ky'ekibuuzo ekisinga obunene mu bulamu; era ky'ekibuuzo ekisinga obukulu, ekikakata ku muntu okumanya okuddibwamu kwakyo.
Omulezi waffe yeyatonda eggulu n'ensi, n'assa amazzi okuva mu ggulu, n'ameza nago ebibala n'emiti, nga mmere yaffe n'ebisolo, ebyo byetulya,Era yeyatutonda n'atonda ne bakadde baffe, n'atonda buli kimu, era yeyateekawo ekiro n'emisana, era yeyafuula ekiro nga budde bwa kwebaka na kuwummula, ate obw'emisana nga bwa kunoonya kyakulya na bitubeezaawo,Era yeyatuteerawo enjuba n'omwezi n'emmunyeenye n'amayanja, era naatuteerawo ebisolo byetulyako era ne tuganyulwa mu mata gaabyo n'ebyoya byabyo.
Omulezi yeyatonda ebitonde, era yabiruŋŋamya eri amazima n'obuluŋŋamu, era y'atekateka ensonga z'ebitonde byonna, era y'abigabirira, era y'ayina obuyinza ku buli kiri mu bulamu bw'ensi n'obwenkomerero, era buli kimu y'akiyinako obuyinza, na buli kyonna ekitali yye kifugibwa yye,Era ye mulamu atafa era atebaka, era ye mulabirizi, oyo; nga ekiragiro kye ky'ekiyimiriddeko buli kiramu, era y'oyo; ekisa kye ekyabuna buli kimu, era y'oyo; atalina kimwekweka mu nsi yadde mu ggulu.Talina kimufaanana, ate ye muyitirivu w'okuwulira, omuyitirivu w'okulaba, era yye [gyali] waggulu w'eggulu lye, teyeetaaga bitonde bye, ate ebitonde bimwetaaga, tayingira mu bitonde bye, ate tewali kitonde kye kimuyingiramu; yayawukana n'asukkuluma,Omulezi yoyo eyatonda ensi eno erabwako n'enkola zaayo engereke obulungi ezitawagamira, kazibeere nkola za mubiri gwa muntu n'ebisolo, oba nkola za butonde obutwetoolodde; ng'enjuba n'emmunyeenye, na byonna ebibukola.
Era mazima buli ekisinzibwa ekitali yye, tekisobola kwetuusaako mugaso gwonna yadde okwetaasa obulabe bwonna, kale kiyinza kusobola kitya okutuusa omugaso kw'akisinza, oba okumutaasa obulabe?!
Mazima ekivunanyizibwa abantu bonna gyali; kumusinza yekka n'obutamugattako kintu kyonna, bwebatyo baleme kusinza kitali yye, oba okumusinziza awamu n'omuntu, yadde ejjinja, yadde omugga, yadde ekitalina bulamu, yadde emmunyenye, yadde ekintu kyonna, wabula okusinza kwonna bakufuula nga kwa Allah yekka omulezi w'ebitonde.
Mazima ekivunaanyizibwa Allah eri abantu bwe baba bamusinzizza, kubawa bulamu bulungi; bwebasangamu obutebenkevu n'obukkakkamu n'eddembe n'obutawankawanka n'okusiima, ate mu bulamu obw'oluvannyuma abayingize ejjana; erimu ebyengera ebitaggwaawo n'okuwangaaliramu okw'olubeerera. Ate bwe bamujeemera ne baawukana ku kiragiro kye, obulamu bwabwe abufuula bwa kubonaabona na nnaku; nebwebaba balowooza nti bali mu ssanyu na ddembe, era ku nkomerero abayingiza omuliro; ogwo gwebatajja kufulumamu, era balina mugwo ebibonerezo ebigenderera, n'okuguwangaaliramu olubeerera.
Mazima Omulezi ow'ekitiibwa yatutegeeza nti mazima yatutonda olw'ekigendererwa ekyekitibwa, era nga nakyo kumusinza yekka, n'obutamugattako kirala kyonna, era n'atulagira okukulakulanya ensi n'obulungi awamu n'okulongoosa, era yenna asinza atali mulezi we era omutonzi we; aba teyamanya kigendererwa kyamutonza, yadde okutuukiriza ekimuvunaanwa eri omutonzi we, era ayonoona mu nsi aba teyamanya mulimu gwamuweebwa.
Mazima Omulezi eyayitirira ekitiibwa teyatutonda naatulek'awo ttayo, era obulamu bwaffe teyabufuula butalina kigendererwa, wabula yalonda mu bantu ababaka [okugenda] eri abantu babwe, nga beebasinga empisa, era nga beebabasinga emyoyo emitukuvu, era nga beebabasinga emitima emiyonjo, naabassaako obubaka bwe, era naabuteekamu buli ekikakata ku bantu okumanya ku mulezi eyayitirira ekitiibwa, n'ebikwata ku kuzuukiza abantu ku lunaku lw'enkomerero; era nga lwe lunaku lw'okubalibwa n'okusasulwa,era ababaka baatuusa ku bantu baabwe engeri gyebalina okusinzaamu omulezi waabwe, era nebabannyonnyola ensinza ez'enjawulo bwezikolebwa n'ebiseera byazo n'empeera yaazo ku nsi ne ku nkomerero, era nebabeekesa omulezi waabwe byeyabaziyiza mu by'okulya n'okunywa n'ebyobufumbo, era nebabaluŋŋamya eri empisa ennungi, era nebabaziyiza empisa enkyamu.
Eddiini ekkirizibwa eri Allah bwe busiraamu, era y'eddiini bannabbi bonna gyebaatuusa, era Allah ku lunaku lw'enkomerero tajja kukkiriza ddiini etali eyo, era buli ddiini abantu gyebaayingiramu nga ssi busiraamu eba ddiini nkyamu, era tegasa nnyini yo, wabula ate emuleetera nnaku ku nsi ne ku nkomerero.
Eddiini eno Allah yagyanguyiza abaddu be, era empagi yaayo esinga obukulu; kukkiriza nti Allah ye mutonzi era y'agwana okusinzibwa, era n'okkiririza mu malayika ze n'ebitabo bye n'ababaka be n'olunaku lw'enkomerero n'okugera, bwotyo n'okkiririza nti mazima tewali kisinzibwa okuggyako Allah, era mazima Muhammad mubaka wa Allah, era n'oyimirizaawo esswala n'otoola zzaka bwoba nga olina ebyobugagga ebikakata okuvaamu zzaka, era n'osiiba omwezi gwa lamanzaani era guli mwezi gumu mu mwaka, era n'olamaga ku lwa Allah eri ennyumba enkadde (amakulu: kaaba) eyo eyaziimbibwa nabbi Ibrahim ku kiragiro ky'omulezi we, bwoba nga osobodde,Era newewala Allah byeyakuziyiza, nga Omugattako ekintu ekirala, n'okutta omuntu, n'obwenzi, n'okulya emmaali etakkirizibwa, kale bwokkiriza Allah n'okola ensinza zino, newewala ebyaziyizibw'ebyo, obeera musiraamu ku nsi, ate ku lunaku lw'enkomerero Allah ajja kukugemulira ebyengera ebitaggwaawo n'okuwangaala okw'olubeerera mu jjana.
Obusiraamu y'eddiini ya Allah ey'abantu bonna, tewali nkizo muyo eri muntu yenna okuggyako olw'okutya Allah n'emirimu emirungi, era abantu muyo benkana.
Abantu bamanya amazima g'ababaka mu ngeri ez'enjawulo, muzo:
Nti amazima n'obuluŋŋamu bye bajja nabyo bikwatagana n'amagezi era n'obubumbwa ebiramu, era amagezi gajulira obulungi bwabyo, era abatali babaka tebasobola kuleeta bifaanagana nga [ababaka] bye bajja nabyo.
Nti mazima ababaka bye bajja nabyo birimu okulongooka kw'eddiini z'abantu n'ebyensi byabwe, n'okutereera kw'ensonga zaabwe n'okuzimba obugunjufu bwabwe, n'okukuuma eddiini zaabwe n'amagezi gaabwe n'ebyobugagga byabwe n'ebitiibwa byabwe.
Nti mazima ababaka (emirembe gibeere ku bbo) tebasaba bantu mpeera olw'okubaluŋŋamya eri obulungi n'obuluŋŋamu, wabula empeera yaabwe bagirinda kuva eri Omulezi waabwe.pA
Nti mazima ababaka bye bajja nabyo mazima era bukakafu era tebiriimu kubuusabuusa, tebikoonagana era tebikubagana, era buli nnabbi akakasa obutuufu bwa ba nnabbi abaakulembera, era akoowoola kudda eri ekyo kyebaakoowoola okudda gyekiri.
Nti mazima Allah awagira ababaka (emirembe gibeere ku bbo) n'obubonero obweyolefu awamu n'eby'amagero ebikaka; ebyo Allah byayisa ku mikono gyabwe; bibeere bujulizi obw'amazima nti mazima bbo babaka okuva ewa Allah, era ekisinga mu by'amagero bya ba nnabbi ky'ekyamagero ky'omubaka eyasembayo; Muhammad (okusaasira n'emirembe bibeere ku yye) era nga nakyo ye Qur'an ey'ekitiibwa.
Qur'an ey'ekitiibwa ky'ekitabo ky'omulezi w'ebitonde, era nga nakyo; bigambo bya Allah, malayika Jibriil (emirembe gibeere ku yye) yakka nabyo ku mubaka Muhammad, era mulimu buli Allah kyeyafuula eky'etteeka okumanya ku Allah ne ba malayika be n'ebitabo bye n'ababaka be n'olunaku lw'enkomerero n'okugera okulungi n'okubi,era muyo mulimu ensinza ez'obuwaze, n'ebyaziyizibwa ebiteekeddwa okwewalibwa, n'empisa ez'ettendo n'ezivumirirwa, na buli ekikwata ku nsonga z'eddiini y'abantu n'ebyensi byabwe, n'enkomerero yaabwe, era kitabo kya magero, Allah yasoomooza abantu okuleeta ekikifaanana, era kyo kyakukuumibwa okutuusa ku lunaku lw'enkomerero mu lulimi lwekyakkiramu, awatali kukendeeramu nukuta, yadde okukyusibwamu ekigambo.
Abaffe, gwe tolaba ttaka kkalu litaliiko kiramu kyonna; kyokka bweritonyako amazzi liramuka era nerimeza buli kimera ekinyirira, mazima oyo alizzaamu obulamu, asobola okulamusa ekifudde,Mazima oyo eyatonda omuntu nga amuggya mu ttondo ly'amazzi amanyomoofu; asobola okumuzukiza ku lunaku lw'enkomerero n'amubala era n'amusasula empeera enzijuvu, ey'ekirungi eba nnungi, n'ey'ekibi eba mbi,Mazima oyo eyatonda eggulu n'ensi n'emmunyeenye, asobola okuddamu okutonda omuntu; kubanga okuddamu okutonda omuntu ogwokubiri, kyangu okusinga okutonda eggulu n'ensi.
Omulezi eyayitirira ekitiibwa agenda kuzuukiza ebitonde okuva mu ntaana zaabyo, oluvannyuma abibale okusinzira ku mirimu gyabyo, yenna aliba yakkiriza n'akakasa [amazima g'] ababaka amuyingiza ejjana, ey'ebyengera ebitaggwaawo ebitasala ngako mu bwongo bwa muntu olw'obunene bwabyo, era yenna ali wakanya waakumuyinginza omuliro ogw'ebibonerezo ebitakoma omuntu byatasobola [yadde] kukubya kifaananyi kyabyo, era omuntu bwanaaba ayingidde ejjana oba omuliro, mazima tajja kufa obugenderevu n'obugenderevu; bwatyo wakubeera ebbanga lyonna ppaka mu byengera oba ebibonerezo.
Omuntu bw'amanya nti eddiini ey'amazima bwe busiraamu, era nti mazima yyo ddiini ya Mulezi wa bitonde, kimukakatako okwanguwa okuyingira mu busiraamu; kubanga omutegeevu bwategeera amazima, ateekwa kuganguyira, era natalindiriza nsong'eyo,era yenna ayagala okuyingira mu busiraamu tekimukakatako kukola mikolo gyanjawulo, era ssi kyabuwaze kuba nga alina yenna gw'ali naye mu bitonde, naye bwekibeerawo nga waliwo omusiraamu oba nga kibadde mu kitongole kya busiraamu, kiba kyongedde obulungi ku bulungi, ekitali ekyo, kimumalira bumalizi okugamba: (Nkakasa nti tewali kisinzibwa okuggyako Allah, era nkakasa nti mazima Muhammad mubaka wa Allah), ng'amanyi amakulu gakyo era nga akikkiririzaamu, era n'ekigambo ekyo afuuka omusiraamu; oluvannyuma nayiga amateeka g'obusiraamu agasigadde mpolampola; asobole okuyimirizaawo Allah byeyafuula eby'etteeka ku yye.
OBUSIRAAMU DDIINI YA MULEZI WA BITONDE BYONNA
Ebitendo by'omulezi w'ebitonde byebiriwa?
Kiki ekituvunaanyizibwako eri Omulezi waffe?
Mugabo ki ogw'abantu eri Allah wabwe?
Lwaki weetuli? Era lwaki twatondebwa?
Omulezi waffe tumusinza tutya?
Ddiini ki ekkirizibwa eri Omulezi eyayitirira ekitiibwa ?
Ebikolo by'eddiini eno (busiraamu) n'empagi zaayo byebiriwa ?
Obusiraamu ddiini eyeeyawulidde ekibinja oba ekikula [ky'abantu] ?
Abantu bamanya batya amazima g'ababaka (okusaasira n'emirembe bibeere ku bbo) ?
Bujulizi ki obukakasa nti waliyo okuzuukira n'okubalibwa ?
Kiki ekigenda okubeerawo ku lunaku lw'enkomerero ?