Description
[Ekitabo] ekifunze ekigasa omusiraamu
Ebivvunuddwa ebirala 48
Kitegekeddwa
Muhammad Al-Shihriy
1443 – 2021
Ennaku z'omwezi ez'okuwandiika okwasembayo 04/05/1443
Kulw'erinnya lya Allah Omusaasizi ennyo ow'ekisa ekingi
Amatendo ga Allah omulezi w'ebitonde [byonna], era okusaasira n'emirembe bibeere ku asinga ba nnabbi n'ababaka ekitiibwa, nnabbi waffe Muhammad, [bibeere] ne ku bantu be ne ba 'swahaaba' be bonna,
Oluvannyuma lw'ebyo byonna:
Mu byengera ebikulu Allah owa waggulu byawa omuntu, kwekumuwa Obusiraamu, n'okubunywererako, n'okukolera ku nnamula zaabwo n'amateeka gaabwo, Era mu kitabo kino omusiraamu ayiga ebikolo eddiini ye kwetereerera mu ngeri enfunze, nga kimunyonyola enfaanana n'ebitendo by'eddiini eno enkulu; okumanya kwe omulezi we owa waggulu kweyongere, n'eddiini ey'Obusiraamu, ne nnabbi we Muhammad okusaasira n'emirembe bibeere ku yye; bwatyo asinze Allah ng'asinziira ku kutegeera na kumanya.
Allah owa waggulu yatutonda olw'ekigendererwa eky'amaanyi, era nga nakyo; kwe kumusinza yekka nga tewali kimugattibwako, nga bwe yagamba [Allah] eyayawukana: {Era ssaatonda majinni na bantu wabula lwakuba nti bansinze} [Surat al-Dhaariyaat: 56] Amakulu: bamwawule mu kumusinza yekka nga tewali kimugattibwako, Era ekiruubirirwa ekyo eky'amaanyi kyekyetooloolerako emirimu gyaffe gyonna n'ebigendererwa byaffe mu nsi eno, yagamba [Allah] eyayawukana: {Abaffe mwalowooza nti mazima twabatonda nga tewali kigendererwa, era nti mazima mmwe temugenda kuzzibwa gye tuli.* Agulumizibwe Allah [Katonda asinzibwa] Omufuzi Owamazima. Mpawo asinzibwa okujjako Yye Mukama Katonda Omulezi wa Namulondo ey'ekitiibwa.} [Suratul Mu'uminuun: 115-116]
Yagamba [Allah] omugulumivu: ﴾Abange mmwe abantu, musinze Omulezi wammwe, oyo eyabatonda (n'atonda) n'abo abaabakulembera, kibasobozese okumutya﴿ [Suratul Baqara: 21]. Yagamba [Allah] omugulumivu: ﴾Ye Yye [Allah] Katonda Oyo awatali asinzibwa mulala (mu butuufu) wabula Yye yekka;-﴿ [Suratul Hashr: 22] Yagamba [Allah] omugulumivu: {Tewali kintu nakimu kifaanana nga ye, naye Awulira, Alaba} [Surat al-Shuura: 11].
Allah ye mulezi wange era ye mulezi waabuli kintu, ye Nnannyini [bufuzi], ye Mutonzi, ye Mugabirizi, y'atambuza buli kimu.
Era y'Agwanidde yekka okusinzibwa, tewali mulezi atali yye, era tewali asinzibwa mubutuufu atali yye.
Alina amannya amalungi n'ebitendo ebyawaggulu, ebyo byeyeekakasaako yye kennyini era nebimukakasibwako nnabbi we okusaasira n'emirembe bibeere ku yye, byatuuka ku ntikko mu bujjuvu n'obulungi, talina kimufaanana ate nga ye muyitirivu w'okuwulira, omuyitirivu w'okulaba.
Omugabirizi, Omusaasizi, Omusobozi, Omufuzi, Omuwulizi, Ow'emirembe, Omulabi, Eyeesigamwako, Omutonzi, Ow'ekisa, amalira abaddu be, Omusonyiyi.
Omugabirizi: Avunaanyizibwa ku bigabirirwa by'abaddu ebyo ebiyimirizaawo emitima gyabwe n'emibiri gyabwe.
Omusaasizi: Nnyini kisa ekigazi eky'amaanyi ekyo ekyaabuna buli kimu.
Omusobozi: Nnyini busobozi obujjuvu obwo obutabeeramu kulemererwa yadde okukoowa.
Omufuzi: yye y'atendebwa n'ebitendo eby'amaanyi n'okukaka n'okutambuza ensonga, Nannyini [buyinza ku] buli kimu era alina olukusa okubikozesa.
Omuwulizi: oyo awulira byonna ebiwulirwa eby'ekyama n'olwatu, era awulira okusaba kw'abaddu be n'okumwewombeekera kwabwe [nga bamwegayirira].
Ow'emirembe: oyo atalina bukendeevu bwonna yadde ekizibu oba akamogo.
Omulabi: oyo okulaba kwe okwabuna buli kimu nebwekiba kitono kitya, nyini kumanya bintu, omukugu mu byo, amanyi n'ebiri munda mu bbyo.
Eyeesigamwako: omuyima w'ebigabirirwa by'ebitonde, era abibeererawo mu bibiyamba, era oyo abeererawo mikwano gye, n'abanguyiza era n'abamalira ensonga.
Omutonzi: omutandisi w'ebintu era omugungi waabyo nga talina kwalabidde.
Ow'ekisa: oyo agabirira abaddu be era abasaasira n'abawa byebasabye.
Omumalizi: oyo amalira abaddu be byonna byebeetaaga, era oyo okuyamba kwe okumala nga tewali kulala, era nga akulina teyeetaaga kulala.
Omusonyiyi: oyo ataasa abaddu be obubi bw'ebyonoono byabwe, era n'atababonereza kulw'ebyonoono ebyo.
Yagamba [Allah] omugulumivu: {Mazima omubaka yabajjira nga ava mu mmwe bennyini nga kimuzitoowerera nnyo ekyo ekibakaluubiriza, ng'alulunkanira ku mmwe (obbalungamya) era eri abakkiriza bonna mukwata mpola, musaasizi} [Surat al-Tawba: 128]. Yagamba [Allah] omugulumivu: {Tetwakutuma ggwe (Nabbi Muhammad) okugyako nga oli kya kusaasira eri ebitonde (byonna)} [Surat al-Anbiyaa: 107].
Ye Muhammad mutabani wa Abdallah mutabani wa Abdulmuttwalib mutabani wa Haashim. Era Haashim ava mu [kika ky'aba] quraysh, era aba quraysh bava mu bawalabu.
Maama we: Aamina muwala wa Wahab, ate eyamuyonsa: Haliima al-Sa'adiyya, era [nnabbi] okusaasira n'emirembe bibeere ku yye yawasa abakyala kkuminoomu, era yafa nga akyalina mwenda.
Era nnabbi okusaasira n'emirembe bibeere ku yye alina abaana musanvu, basatu balenzi ate bana bawala, abalenzi beeba: Qaasim, Abdallah, ne Ibrahim, ate abawala beeba: Zainab, Ruqayya, Ummu kulthuum, ne Faatwima.
Kyatteeka okumugondera mw'ebyo bye yalagira n'okumukakasa mw'ebyo bye yayogera, n'okwewala bye yaziyiza era n'abyekesa, era [kyatteeka] obutasinza Allah okuggyako nga bweyakola ne bweyayigiriza.
Obubaka bwe era obubaka bwa bannabbi bonna olubereberye lwe; kukoowoola kudda eri kusinza Allah yekka awatali kumugattako, [Allah] owa waggulu yagamba: {Era tetwatuma oluberyeberye lwo Mubaka yenna okugyako nga tumutumira obubaka (nga tugamba) nti tewali kisinzibwa kyonna (mu butuufu) okugyako nze (Katonda) kale munsinze.} [Surat al-Anbiyaa: 25]. Era yye okusaasira n'emirembe bibeere ku yye, y'owenkomerero mu ba nnabbi n'ababaka, nga [Allah] eyayawukana bwe yagamba: {Muhammad tabangako kitaawe w'omu ku basajja mu mmwe wabula (yye) Mubaka wa Allah, era ow'enkomerero wa ba Nabbi. Era bulijjo Allah amanyidde ddala ebifa ku buli kintu.} [Suratul Ahzaab:40]. [Allah] owa waggulu yamutuma n'eddiini Busiraamu eri abantu bonna, nga [Allah] eyayawukana bwe yagamba: {Era te twakutuma (lwa nsonga ndala) okujjako okukusindika eri abantu bonna nga obunyisa amawulire ag'essanyu era nga olabula, wabula abantu abasinga obungi tebamanyi.} [Surat Saba'a: 28].
Era yye okusaasira n'emirembe bibeere ku yye alina emigabo (byabanja) egy'amaanyi ku buli musiraamu, mugyo:
1- okukkiriza obwannabbi bwe n'amazima ge, n'okukuumibwa kw'ebyo byeyajja nabyo mu Ssemateeka ow'amaanyi, n'okumugondera n'okumugoberera mu ssemateeka oyo, [Allah] owa waggulu yagamba: Era tayogera nga asinziira ku kwagala (kwe). Tebiri byo (byayogera) okugyako okuba nti bubaka obuwereezebwa (gyali nga buva ewa Katonda).} [Surat al-Najm: 3-4].
2- obwetteeka bw'okumwagala okusaasira n'emirembe bibeere ku yye, n'okukukulembeza ku kweyagala [omwoyo], n'omwana, n'ebitonde byonna, era okwagala kuno kutegeeza; kukwatagana na nnabbi okusaasira n'emirembe bibeere ku yye mu kuluŋŋamya kwe n'okumugondera mw'ebyo bye yalagira n'okwewala ebyo bye yaziyiza era n'abyekesa.
3- obwetteeka bw'okumuwa ekitiibwa n'okumutaasa n'okumugulumiza okusaasira n'emirembe bibeere ku yye.
4- Okumusaalira(amakulu okumusabira) okusaasira n'emirembe bibeere ku yye, era nga nakwo kwe: okumutendereza okusaasira n'emirembe bibeere ku yye, n'okusaba Allah asitule okwogerwako kwe, era amwongere obukulu n'ekitiibwa, yagamba okusaasira n'emirembe bibeere ku yye: (yenna ansaalira olusaalira [lumu] Allah amusaalira kulw'olusaalira olwo; ensaalira kkumi) Yayogerwa Muslim. 5- okuziyiza okusukka ekkomo mu mugabo gwe okusaasira n'emirembe bibeere ku yye, n'okumusussa eddaala eryo Allah lyeyamuwa, era nnabbi okusaasira n'emirembe bibeere ku yye yakyekesa olwekesa olw'amaanyi, bweyagamba okusaasira n'emirembe bibeere ku yye: «Temunsukkulumya nga abakulisitaayo bwebaasukkulumya [nnabbi Isa] mutabani wa Maryam, kubanga mazima nze ndi muddu we; n'olwekyo mugambe: muddu wa Allah era mubaka we» Yayogerwa Bukhari.
Amazima, Obusaasizi, Ekisa, Obuguminkiriza, Obuzira, Obugabi, Empisa ennungi, Obwenkanya, Obwetowaze, Okusonyiwa.
Yagamba [Allah] omugulumivu: {Abange mmwe abantu mazima bwabajjira obubonero obwenkukunala, era nga twassa gyemuli ekitangaala ekyeyolefu (Kur'ani).} [Surat al-Nisaa: 174]. Kulaani ey'ekitiibwa bigambo bya Allah owa waggulu byeyayogera mu butuufu, era n'abissa ku nnabbi we Muhammad -okusaasira n'emirembe bibeere ku yye-; aggye abantu mu bizikiza okudda eri ekitangaala era abaluŋŋamye eri ekkubo eggolokofu. Yenna ajisoma afuna empeera ey'amaanyi, era akolera ku buluŋŋamu bwayo, akwata ekkubo ettereevu. Hadith nga eva ku Abdullah mutabani wa Mas'uud Allah amusiime, yagamba: yagamba Omubaka wa Allah okusaasira n'emirembe bibeere ku yye: (Yenna asoma ennukuta okuva mu kitabo kya Allah, akifunamu ekirungi, ate ekirungi kikubisibwamu kkumi ebikifaanana, ssigamba nti {alif laam miim} nnukuta, wabula: alif nnukuta, ne laam nnukuta, ne miim nnukuta) Yayogerwa Tirimith. Allah owa waggulu yagikuuma obutakyusibwa yadde okwongerwamu oba okutoolwamu, era n'agifuula akabonero akookusigalawo okutuuka ku lunaku enkomerero lweriyimirirawo, yagamba [Allah] eyayawukana {Mazima ffe twassa Qura'an era mazima ddala ffe tujja okugikuuma} [Surat al-Hijr: 9] Era yenna awanuuza nti mazima Kulaani nkendevu oba yakyusibwa, abeera alimbisa Allah owa waggulu n'omubaka we okusaasira n'emirembe bibeere ku yye, era aba afulumye mu nzikiriza y'Obusiraamu.
era Kulaani ey'ekitiibwa erimu ebyo ebiri mu bitabo ebyasooka, n'okusingawo mw'ebyo ebisabwa Katonda, n'empisa ez'eggonjebwa, era ekakasa ebyo ebyajja mubyo eby'amazima, era tewali kitabo kiva wa Allah owa waggulu mu mulembe guno, nga kya tteeka okukigoberera n'okukitukuza [okkiwa ekitiibwa], n'okusinza olw'okukisoma, n'okukikolerako; okuggyako Kulaani ey'ekitiibwa.
Emitendera gy'eddiini giri esatu: Obusiraamu, Obukkiriza, n'Okulongoosa.
Obusiraamu, kwe: kwewaayo eri Allah mu kumwawula, n'okumukkakkanira mu kumugondera, n'okwewala okumugattako ekirala, naabo abakikola.
yagamba okusaasira n'emirembe bibeere ku yye: (Obusiraamu bwazimbibwa ku mpagi ttaano: okukakasa n'okujulira nti tewali kisiinzibwa mubutuufu okujjako Allah, n'okukakasa nti Nabbi Muhammad mudduwe era mubakawe, n'okuyimirizaawo esswala (ettaano buli lunaku), n'okutoola zakkah (mu mmaali yo), n'okusiiba omwezi gwa ramadhan, n'okulambula enyumba ya Allah ey'emizizo ('kaaba' - okukola hijja) Yegattibwako Bukhar ne Muslim
Empagi z'obusiraamu nsinza ez'obuwaze ezikakata ku buli musiraamu, era Obusiraamu bw'omuntu tebuba butuufu okuggyako nga ekkiririza mu bw'etteeka bwazo n'okuziyimirizaawo; kubanga Obusiraamu buzimbiddwa kuzo, y'ensonga lwaki zaayitibwa empagi z'obusiraamu.
Era empagi ezo zeezino:
Yagamba [Allah] omugulumivu: {N'olwekyo (Ggwe Muhammad) manya nti mazima tewali asinzibwa mubutuufu okujjako Allah} [Surat Muhammad: 19]. Era Allah n'agamba {Omubaka yabajjira nga ava mu mmwe mwennyini nga kimuzitoowerera nnyo ekyo ekibakaluubiriza abalumirirwa nnyo, era eri abakkiriza bonna wa kisa musaasizi} [Surat al-Tawba: 128].
Amakulu g'okukakasa nti mazima tewali kisinzibwa okuggyako Allah: tewali kisinzibwa mu butuufu okuggyako Allah.
Amakulu g'okukakasa nti mazima Muhammad mubaka wa Allah: kumugondera kw'ebyo bye yalagira n'okumukakasa mw'ebyo bye yagamba, n'okwewala bye yaziyiza era n'abyekesa, era n'obutasinza Allah okuggyako nga bweyakola ne bweyayigiriza.
Yagamba [Allah] omugulumivu: {muyimirizeewo esswala} [Suratul Baqara: 110]
Okuyimirizaawo esswala kubeera kugiyimirizaawo mu ngeri eyo Allah owa waggulu gyeyalagira era omubaka we Muhammad okusaasira n'emirembe bibeere ku yye gyeyatuyigiriza.
Yagamba [Allah] omugulumivu: {era mutoole 'zzaka'} [Suratul Baqara: 110]
Allah owa waggulu yalaalika e 'zzaka'; okugezesa obutuufu bw'obukkiriza bw'omusiraamu, n'olwokwebaza omulezi we kulwebyo byamugabiridde mu byengera by'emmaali, n'olwokuyamba abaavu n'abeetaavu.
Era okuwa 'zzaka' kukolebwa nakugiwa abo abagwana okugifuna.
Era nga mugabo ogw'obuwaze mu mmaali bweba erina ekigero ekyenjawulo ky'ewezezza, guweebwa ebika [by'abantu] munaana, Allah yaboogera mu Kulaani ey'ekitiibwa, mubo beebaavu n'abateesobola.
Era mu kugiwa mubaamu okutendebwa n'obusaasizi n'ekisa, n'okulongoosa empisa z'omusiraamu n'emmaali ye, n'okusiimisa emyoyo gy'abaavu n'abateesobola, n'okunyweeza ennyingo z'okwagalana n'obwasseruganda wakati w'abasiraamu abawangaalira awamu, kyekyo lwaki omusiraamu omulongoofu agitoola n'omwoyo omusiimu era n'essanyu mu kugiwa, olwekyo ekirimu eky'okuwa essanyu abantu abalala.
Era ekigero ky'e 'zzaka' y'emmaali 2.5% mu by'obugagga ebiterekeddwa nga zzaabu ne ffeeza n'essente n'ebyamaguzi ebitegekeddwa okutundibwa n'okugulwa olw'okufunamu amagoba; bweguba nga omuwendo gwabyo gulina ekigero ekyenjawulo gwekiwezezza, ate ne wayitawo omwaka mulamba.
Era nga 'zzaka' bwekakata kw'oyo alina omuwendo ogumanyiddwa mu bisolo ebirundibwa (eŋŋamiya n'ente n'embuzi), bwebiba birya ku muddo gwa ku ttale ebbanga ly'omwaka erisinga obunene nga nyinizo ssi yaaziriisa.
Era nabwekityo 'zzaka' ekakata mu biva mu ttaka nga amayinja ag'omuwendo n'ebitereke -era nga by'ebyo ebyaziikibwa nga mu biseera (ebyedda) eby'obutamanya [nga nnabbi tannaba kutumwa] -, era nabwekityo ebirime by'empeke n'ebibala n'ebyobugagga ebyomuttaka bwebiba biwezezza ekigero eky'enjawulo.
Yagamba [Allah] omugulumivu: {Abange mmwe abakkiriza mulaalikiddwa okusiiba nga bwe kwalaalikibwa abaaliwo olubereberye lwammwe, ekyo kibasobozese okutya Katonda} [Suratul Baqara: 110]
Lamanzaani gwe: mwezi ogwomwenda mu mwaka mu 'kalenda' y'Obusiraamu, era mwezi ogugulumizibwa abasiraamu, era gulina ekifo ekyenjawulo ku myezi gy'omwaka egisigadde, era okugusiiba gwonna yeemu ku mpagi z'obusiraamu ettaano.
Okusiiba lamanzaani kwe: kusinza Allah owa waggulu n'okweziyizaako emmere n'ebyokunywa n'okwegatta, na byonna ebisiibulula okuva emmambya lwesala okutuusa enjuba lwegwa, obudde bwemisana obwennaku z'omwezi gwa lamanzaani ogw'omukisa.
Yagamba [Allah] omugulumivu: {Era Katonda Akakasa ku bantu bonna okulambula ennyumba eyo, (nga kino kikakafu) ku muntu aba asobola ekkubo erituuka gy'eri} [Surat Al-Imraan: 97]. 'Hijja' oba okulamaga e Makka kubeera kw'oyo alina obusobozi obugendayo, [kikakata] omulundi gumu mu buwangaazi, era nga nakyo: kwe kugenda ku nyumba ey'emizizo n'ebifo ebitukuvu mu Makka ey'ekitiibwa olw'okutuukiriza ensinza [za Allah] ez'enjawulo mu kiseera eky'enjawulo, era nnabbi okusaasira n'emirembe bibeere ku yye yakola 'hijja' ne ba nnabbi abalala olubereberye lwe baakola 'hijja', era Allah yalagira Ibrahim emirembe gibeere ku yye akoowoole abantu okukola 'hijja', nga Allah owa waggulu bwe yategeeza kw'ekyo mu Kulaani ey'ekitiibwa n'agamba: {Era koowoola abantu baggye okukola Hijja, bagenda ku kujjira abatambuza ebigere, n'abalijjira ku nsolo enkovvu [olw'obukoowu] nga bava mu buli kkubo eryewala.} [Surat al-Hajj: 27].
Obukkiriza: kwekumanya mu mutima, n'okukakasa okunywevu, n'okuwa obujulizi obujjuvu [okuva ku mutima] ku buli Allah n'omubaka we byebaalagira okukkiririzaamu, n'okubikkakkanira [ebiragiro] kungulu ne munda, era kwekukakasa kw'omutima, n'okukkiriza kwagwo okuyingiramu emirimu gyomu mutima, n'emirimu gy'omubiri, era ekyo kizingiramu okuyimirizaawo eddiini yonna, [obukkiriza] bweyongera n'okukola ebirungi era bukendeera na kukola byonoono.
Nabbi okusaasira n'emirembe bibeere ku yye yabuuzibwa ku bukkiriza n'agamba: (Obukkiriza kwe kukkiririza mu Allah, ne Malayika ze n'ebitabo bye n'ababaka be n'olunaku lw'enkomerero, n'okukkiriza okugera okulungi mu kkwo n'okubi). Empagi z'obukkiriza z'ensinza z'omutima ezikakata ku buli musiraamu, era Obusiraamu bw'omuntu tebuba butuufu okuggyako ng'azikkiririzzaamu, n'okukolera ku makulu gaazo, y'ensonga lwaki zaayitibwa empagi z'obukkiriza, Era enjawulo eri wakati waazo n'empagi z'obusiraamu: nti mazima empagi z'obusiraamu mirimu emyeyolefu omuntu agituukiriza n'ebiyungo bye, nga okwatula (shahaada) okukakasa okw'emirundi ebiri, n'esswala, ne 'zzaka', ate empagi z'obukkiriza mirimu gya mutima, omuntu agituukiriza na mutima gwe, nga: okukkiriza Allah ne ba malayika be, n'ebitabo bye, n'ababaka be.
Yagamba [Allah] omugulumivu: {Abakkiriza ab'amazima beebo abakkiriza Allah} [Surat Nuur: 62].
Tukkiriza okubaawo kwa Allah, era tukkiririza mu bw'omu bwe mu bulezi bwe, n'okusinzibwa kwe, n'amannya ge n'ebitendo bye, okukkiriza Allah kulimu bino wammanga:
Okukkiririza mu kubaawo kwe eyayawukana era owa waggulu.
Okukkiririza mu bulezi bwe eyayawukana era owa waggulu, era nti mazima ye nnyini buli kimu era ye mutonzi waabyo era ye mugabirizi waabyo, era yaatambuza ensonga zaabyo.
Okukkiririza mu kusinzibwaakwe eyayawukana, era nti mazima yye yagwana okusinzibwa yekka awatali kumugattako mu kusinza kwonna: nga mu kusaala n'okusaba n'okweyama, n'okusala ebisolo, n'okusaba okuyambibwa, n'okwekingiriza okuva eri obuzibu, n'ensinza zonna endala.
- Okukkiririza mu mannya ge amalungi n'ebitendo bye ebyawaggulu ebyo byeyeekakasaako yye kennyini era nebimukakasibwako nnabbi we okusaasira n'emirembe bibeere ku yye, n'okuggyawo ebyo ebitendo byeyeggyako yye kennyini [nti tabiri era tabikola] oba nnabbi okusaasira n'emirembe bibeere ku yye byeyamuggyako, era nti mazima amannya ge n'ebitendo bye byatuuka ku ntikko mu bujjuvu n'obulungi, era nti mazima tewali kimufaanana, ate nga ye muyitirivu w'okuwulira era omuyitirivu w'okulaba.
Yagamba [Allah] omugulumivu: {Amatendo [amalungi] ga Katonda Omutonzi w'eggulu n'ensi, eyassaawo ba Malaika okuba ababaka, balina ebiwawaatiro bibiri bibiri n'ebisatu bisatu n'ebina bina. Ayongera mu kutondea (ekyo) ky'ayagala. Mazima Katonda muyinza ku buli kimu.} [Suratul Faatwir: 1].
Tukkiriza nti mazima ba malayika bitonde ebitalabika, era mazima bbo baddu ba Allah, yabatonda mu kitangala, era naabafuula abagonvu abakkakkamu gyali.
Era bbo bitonde byamaanyi, tewali amanyi maanyi gaabwe na muwendo gwabwe kubimalayo okuggyako Allah owa waggulu, era buli omu kubo alina ebitendo n'amannya n'emirimu Allah gyeyabawa nga gyeyawulidde ku bbo, era mubo ye Jibriil emirembe gibeere ku yye eyakwasibwa ogw'obubaka, akka nabwo okuva ewa Allah owa waggulu, okutuuka ku babaka be.
Yagamba [Allah] omugulumivu: {Mwe mulangirire nti: 'Ffe twakkiriza Katonda asinzibwa Allah n'ekyo ekyatussibwako, n'ekyo ekyassibwa ku Ibrahiim, ne Ismail ne Isihaaka ne Yakuubu n'abaana be; n'ekyo ekyaweebwa Musa ne Isa, n'ebyo ebyaweebwa ba Nnabi (bonna) nga biva ewa Mukama Katonda Omulezi wabwe. Tewali nomu mubo gwetusosola, era ffenna ye yekka (gwetusiramukira) gwetujeemulukukira amateeka ge.} [Surat al-Baqara: 136].
Tukkiriza nti Allah yassa ku babaka be ebitabo, nga bujulizi eri ebitonde( abantu n'amajinni) era kkubo eggolokofu eri abakozi b'emirimu.
Nga babayigiriza nabyo amagezi amalungi era nga babatukuza.
Era Allah eyayawukana, mu kutuma kwe nnabbi we Muhammad okusaasira n'emirembe bibeere ku yye eri abantu bonna, yasangulawo ne ssemateeka we (gwe yatumwa naye), zi ssemateeka ezisigadde ezaakulembera, era naafuula Kkulaani ey'ekitiibwa nga yeeyesigibwa era yeejulizibwa ebitabo ebisigadde ebyava mu ggulu, era nga ebisangulawo, era Allah yeyama okukuuma Kkulaani ey'ekitiibwa obutakyusibwa oba okwongerwamu n'okukendeezebwamu, n'agamba [Allah] owa waggulu: {Mazima ffe twassa Qura'an era mazima ddala ffe tujja okugikuuma} [Surat al-Hijr: 9] Kubanga mazima yyo kkulaani ey'ekitiibwa ky'ekitabo kya Allah ekyasembayo eri abantu era nnabi we Muhammad okusaasira n'emirembe bibeere kuyye y'owenkomerero mu babaka , era eddiini Busiraamu y'eddiini Allah gy'eyasiimira abantu okutuusa ku lunaku lw'enkomerero, yagamba [Allah] owa waggulu {Mazima eddiini entuufu mu maaso ga Allah busiraamu} [Surat Al-Imraan: 19].
Era ebitabo ebyava mu Ggulu ebyo Allah owa waggulu byeyayogerako mu kitabo kye byebino:
Kulaani ey'ekitiibwa: Allah yagissa ku nnabbi we Muhammad okusaasira n'emirembe bibeere ku yye.
Tawraati: Allah yagissa ku nnabbi we Muusa emirembe gibeere ku yye.
Injil: Allah yagissa ku nnabbi we Isa emirembe gibeere ku yye.
Zabbuur: Allah yagissa ku nnabbi we Daawuud emirembe gibeere ku yye.
Suhuf ya Ibrahim: Allah yagissa ku nnabbi we Ibrahim emirembe gibeere ku yye.
Yagamba [Allah] omugulumivu: ﴾Era mazima Twatumanga mu buli kibiina omubaka (abalagire nti:) Musinze Katonda, mwewale (okusinza) ab'obulimba﴿ [Surat al-Nahli: 36].
Tukkiriza nti mazima Allah owa waggulu yatumira ebitonde bye ababaka babakoowoole okudda eri okusinza Allah yekka nga tewali kimugattibwako, n'okuwakanya byonna ebisinzibwa ebitali yye [Allah] owa waggulu.
Era mazima bonna [ababaka] bantu, basajja, baddu ba Allah, era mazima bbo boogera mazima era bakakasibwa byeboogera, batya Allah, beesigwa, baluŋŋamya era baluŋŋamu, Allah yabawagira n'obubonero obukakasa amazima gaabwe, era mazima bbo baatuusa buli Allah kyeyabatuma nakyo, era mazima bbo bonna baali ku mazima ameeyolefu, era ku buluŋŋamu obunyonyofu.
Era okukoowoola kwabwe kwakwatagana okuva ku yasooka okutuuka ku yasembayo mu kikolo ky'eddiini n'ensibuko yaabwo, era nga nakyo kwekwawula Allah ow'amaanyi ow'ekitiibwa mu kusinza, era n'okulekayo okumugattako.
Yagamba [Allah] omugulumivu: {Katonda asinzibwa ye Allah. Teriiyo kusinza kirala okujjako Yye . Awatali kuwannaanya mwenna wa kubakung'aanyiza wamu okutuusa ku lunaku lw'enkomerero olutabuusibwabuusibwa [kujja kwa lwo]. ani asinga okwogera amazima mu bigambo okusinga Allah?} [Suratu Nisaa: 87]
Tukkiririza mu lunaku lw'enkomerero era nga lwe lunaku lw'okuyimirira; olwo olutalinaayo lunaku luvannyuma lwalwo, era tukkiriza buli ekirukwatako, mwebyo omulezi waffe ow'amaanyi era ow'ekitiibwa byeyatutegeezaako mu kitabo kye eky'ekitiibwa, oba nnabbi waffe Muhammad okusaasira n'emirembe bibeere ku yye byeyatubuulirako, nga okufa kw'omuntu n'okuzuukira n'obulamu oluvannyuma lw'okufa, n'okuwolereza, ne minzaani, n'okubalibwa, n'ejjana n' omuliro, n'ebitali ebyo ebirina akakwate n'olunaku lw'enkomerero.
Yagamba [Allah] omugulumivu: {Mazima ffe buli kintu twakitonda mu ngeri nga bwe kisaana okuba.} [Suratul Qamar: 49]
Tukkiririza mu kugera okulungi kwakwo n'okubi kwakwo, era nga kwekugereka kwa Allah owa waggulu ebiriwo okusinziira ku byali mu kumanya kwe era n'ebibeerawo okusinziira ku magezi ge, era mazima buli kituuka ku bitonde mu bibeerawo mu nsi muno; bibeerawo n'okumanya kwa Allah n'okugera kwe eyayawukana era owa waggulu, era [bibeerawo] na kutambuza kwe nsonga yekka awatali kimugattibwako, era nti mazima okugera kuno kwonna kwali kuwandiike nga omuntu tannatondebwa, era mazima omuntu alina okwagala n'okusalawo, era mazima yye [omuntu] ekituufu y'akola ebikolwaabye; naye ebyo byonna tebisukka kumanya kwa Allah na kwagala kwe.
Kale okukkiririza mu kugera kuyimirirawo ku mitendera ena, gyegino:
Ogusooka: okukkiririza mu kumanya kwa Allah okubuna era okumalayo
Ogwokubiri: okukkiririza mu kuwandiika kwa Allah [kweyawandiika] buli kyakubaawo okutuusa ku lunaku lw'enkomerero.
Ogwokusatu: okukkiririza mu kwagala kwa Allah okubeerawo n'obusobozi bwe obujjuvu, era buli kyayagala kiba, na buli kyatayagadde tekiba.
Ogwokuna: okukkiriza nti mazima Allah ye mutonzi wa buli kimu, tewali kimugattibwako mu kutonda kwe.
Okulongoosa, kwe: kusinza Allah nga olinga amulabako, sso nga bwoba tomulaba, mazima yye akulaba. Yagamba [Allah] owa waggulu: {Mazima Katonda ali wamu n'abo abamutya era (aliwamu) n'abo abeeyisa obulungi} [Surat al-Nahli: 128]
Yagamba [Allah] omugulumivu: {Mazima Katonda Ayagala abeenenya, era ayagala abeetukuza.} [Suratul Baqara: 222]. yagamba okusaasira n'emirembe bibeere ku yye: (Yenna afuna wudhu nga bwengifunye, oluvannyuma n'asaala raka'a bbiri natanyumiza muzo wakatiwe n'omwoyo gwe [naatagyilowoolezaamu], asonyiyibwa byeyakulembeza okkola mu byonoono) Yayogerwa Bukhari. Mu biraga obukulu bw'esswala, kwekuba nti mazima Allah yateekawo okwetukuza olubereberye lwayo, era naakufuula akakwakkulizo k'obutuufu bwayo, nabwekityo ky'ekisumuluzo ky'esswala, era okufumiitiriza ku bukulu bwayo, kufuula omutima okuba nga guwankawanka okuyimirizaawo esswala, yagamba [nnabbi Muhammad] okusaasira n'emirembe bibeere ku yye: (Okwetukuza kitundu kyabukkiriza, n'ekigambo "Al-hamudu lillah" (Amatendo gonna ga Allah) empeera zaakyo zijjuza minzaane, n'ebigambo ebibiri "Subuhaanallah Walihamudu lillah" bijjuza ebbanga eriri wakati w'eggulu n'ensi. Ate yo esswala kitangaala ate okusaddaaka kabonero kabukkiriza, n'obuguminkiriza kitaangaala ate yo Qur'aan yaakukuwaako obujulizi obulungi oba obubi (eri oyo eyagisuula muguluka Allah abeere nga amuwa ekimusaanira) Manya nti buli muntu akeera kumakya, mulimu atunda omwoyo gwe mwebyo Allah byayagala nabeera nga aguwonyezza, oba n'agutunda mwebyo Allah byatayagala nabeera nga agunnyise) Yayogerwa Muslim. yagamba okusaasira n'emirembe bibeere ku yye: (yenna afuna wuzu naajifuna bulungi, ebyonoono bye bifuluma mu mubiri gwe okutuusa lwebifuluma n'okuva wansi w'enjala ze) Yayogerwa Muslim.
Kale omuddu ayolekera mu maaso g'Omulezi we nga mutukuvu olwetukuza olw'ebikolwa n'okufuna wuzu, n'olwomu mutima nga atuukiriza okusinza kuno, kulwa Allah owa waggulu, ng'agoberera okuluŋŋamya kwa nnabbi okusaasira n'emirembe bibeere ku yye.
[Ebikolwa] ebifuula wuzu ey'obuwaze (nga tonnaba bbikola):
1- Esswala yonna, ssisonga ya tteeka oba ya kyeyagalire.
2- Okwetoloola Kaaba.
3- Okukwata ku Kulaani.
Nfuna wuzu era naaba nga nkozesa amazzi amatukuvu:
Amazzi amatukuvu ge: mazzi gonna agasse okuva waggulu oba agafubutuse mu ttaka negasigala ku butonde bwago, newatabaawo kikyuka ku bitendo byago ebisatu, era nga nabyo: y'elangi n'empooma n'olusu: n'ekintu kyonna mu bintu ebiggyisaawo obutukuvu bw'amazzi.
'siteepu' 1: 'enniya' era nga ebeera mu mutima, era amakulu g'enniya: kwekumalirira kw'omutima okuteeka mu nkola okusinza olw'okusembera eri Allah owa waggulu.
'siteepu' 2: ŋamba: bismilla.
'siteepu' 3: okunaaba ebibatu byombi, emirundi esatu.
'siteepu' 4: okunyumunguza mu kamwa, emirundi esatu.
Okunyumunguza mu kamwa, kwe: kuteeka amazzi mu kamwa n'okugakyusizakyusizaamu, oluvannyuma negawandulwa.
'siteepu' 5: okufeesafeesa amazzi mu nyindo, oluvannyuma okuganyiza emirundi esatu, era okufeesafeesa amazzi mu nyindo: kwekusika amazzi n'omukka okutuuka ennyindo gy'ekoma.
Ate okunyiza: kwekufulumya n'omukka ebiri mu nyindo nga eminyira n'ebirala.
'siteepu' 6: okunaaba ekyenyi, emirundi esatu.
Obwennyini bw'ekyenyi:
Ekyenyi: kyekyolekezebwa nakyo.
Era nga ekkomo lyakyo mu bugazi: kuva ku kutu okutuuka ku kutu.
Era ekkomo lyakyo mu buwanvu: wakati w'obumerero bw'enviiri z'omutwe obwaabulijjo, okutuuka ku nkomerero y'akalevu.
Okunaaba ekyenyi kuzingiramu buli ekirimu ng'obuviiri obutonotono, nabwekityo akafo akali mu maaso g'okutu ne kakoba.
Akafo akali mu maaso g'okutu keeko: akali wakati wa kakoba n'enniiga y'okutu.
Ate kakoba z': enviiri eziri ku ggumba erisoolooba, eriteebedde mu katuli k'okutu akagenda ppaka mu mutwe munda, n'okukka wansi okutuuka ku nnamulagaya w'okutu.
Era nabwekityo okunaaba ekyenyi kutwaliramu enviiri ennyingi zonna ez'ekirevu n'ezo eziwanvuwa okuva ku kkyo.
'siteepu' 7: okunaaba emikono gyombi okutandikira waggulu w'engalo okutuuka ku bukokola, emirundi esatu.
Era obukokola buyingira mu kunaaba kw'emikono okwetteeka.
'siteepu' 8: okusiimuula omutwe gwonna n'emikono ebiri, wamu n'amatu gombi omulundi gumu.
atandikira mu bwenyi bw'omutwe [webukoma] n'asiimula okutuusa enkoto, oluvannyuma n'akommyawo.
era ayingiza engalo ze eza nvamumba mu matuu'ge, n'ayawula ebigalo bi kyalakisajja byo naabiyisa kungulu kw'amatuuge; bwatyo naabeera nga asiimudde kungulu kw'okutu ne munda mwakwo.
'siteepu' 9: okunaaba ebigere ng'atandikira ku bugere okutuusa ku bukongovule, emirundi esatu, era obukongovule buyingira mu kunaaba kw'ebigere okwetteeka.
Obukongovule ge: magumba abiri agasoolooba wansi w'entumbwe.
'Wuzu' eyonooneka n'ebintu bino:
1. Ekiva mu makubo abiri ng'omusulo, n'obubi, n'omukka, n'amazzi agazaala, n'amazzi ag'obwagazi.
2. Okuggwebwako kw'amagezi n'otulo otungi, oba okuzirika, oba okutamiira, oba okugwa eddalu.
3. Buli ekifuula okunaaba okw'obuwaze, nga okufuna 'janaba' [era nga kwekuvaamu amazzi agazaala oba okuva mu nsonga z'abafumbo], n'omukyala okuva mu nsonga zaabwe ez'omwezi, n'omukyala okulekeraawo okuvaamu omusaayi oluvannyuma lw'okuzaala.
Omuntu bwamaliriza ekyetaago kye, kimukakatako okujjawo obucaafu, gamba nga n'amazzi amatukuvu era ng'ekyo ky'ekisinga, oba n'ekitali mazzi matukuvu mw'ebyo ebijjawo obucaafu; nga amafuunfugu n'empapula n'obugoye n'ebiringa ebyo, ekyo nga kirina okubeera mu nsangula ssatu ezitukuza n'okusingawo, era nga ekikozesebwa kitukuvu ate nga kiri mu bikkirizibwa.
Mu mbeera ng'omuntu ayambadde khuffu oba sitookisi, asobola okuzisiimuulako zombi naateetaaga kunaaza bigere byombi, kubukwakkulizo buno:
1. Okubeera nga okuzaambala kwabadde luvannyuma lwa kwetukuza okujjuvu okw'ekizuusi ekitono oba ekizuusi ekinene.
2. Okubeera nga zombi ntukuvu ssi ncaafu.
3.Okubeera nga okusiiga kuli mu bbanga eryakugerekerwa.
4. Okubeera nga zaafunibwa mu makubo matuufu, nezitaba nzibe yadde ennyage.
Khuffu ze: zambalwa mu bigere nga zaamaliba amawewufu n'ekigefaanaanyiriza, era n'ekiringa zzo: z'engatto ezibikka ebigere byombi. Sitookisi z'ezo: omuntu zaayaambala mu bigere bye nga zaalugoye n'ekirwefaanaanyiriza, era n'ekiringa zzo ky'ekiyitibwa 'Shurraab'.
Ekigendererwa mu kuteekebwawo kw'okusiimuula ku khuffu: ekigendererwa mu kusiiga ku khuffu kwanguyiriza n'okuwewulira abasiraamu, abo abakaluubirizibwa okujjamu khuffu oba sitookisi banaabe ebigere, naddala mu biseera eby'obutiti n'obunnyogovu obungi, ne mu ssafaali.
Ebbanga ly'okusiiga: atali mutambuze: misana na kiro (essaawa 24). Omutambuze: ennaku ssatu n'ebiro byazo (essaawa 72).
Okubala obudde bw'okusiiga kutandiikira ku lusiimuula olusooka ku khuffu oba sitookisi oluvannyuma lw'okufuna ekizuusi. [amakulu: okuggwebwako wuzu]
Engeri okusiiga ku khuffu oba sitookisi gyekukolebwamu:
1. Ebibatu byombi bitobezebwa.
2. Ekibatu kiyisibwa kungulu kw'ekigere (okuva ku bugere ppaka ku ntandikwa y'entumbwe).
3. Ekigere ekya ddyo kisiimuulwa na mukono gwa ddyo, n'ekigere ekya kkono na mukono gwa kkono.
Ebyonoona okusiimuula: 1. Ebifuula okunaaba okw'obuwaze. 2. Okuggwaako kw'obudde bw'okusiimuula.
Ssinga omusajja oba omukyala yeetaba mu nsonga z'abafumbo nebwaba tavuddeemu mazzi gazaala, oba nebavaamu amazzi agazaala nga gasinziira ku bwagazi nga tebeebase, oba negabavaamu nga beebase; kikakata ku bombi okunaaba, basobole okuyimirizaawo esswala oba ekyo ekyetaagisa okumala okwetukuza, nabwekityo omukyala bwaaba atukudde okuva mu nsonga z'omwezi oba oluvannyuma lw'okuzaala, akakatibwako okunaaba nga tannaba kusobola kuyimirizaawo sswala oba ekyetaagisa okumala okwetukuza.
Engeri y'okunaaba eri bweti:
Omusiraamu okubunyisa omubiri gwe gwonna amazzi mu ngeri yonna, era ekyo nga kiiyingiramu okunyumunguza mu kamwa n'okufeesafeesa amazzi mu nnyindo, era bwaba abunyisizza omubiri gwe amazzi; ekizuusi ekinene kimuvaako, era okutukula kwe nekujjula.
Ate waliwo n'engeri endala esinga obujjuvu, era nga nnabbi okusaasira n'emirembe bibeere ku yye gyeyakolerangako, era nga nayo yeeno:
01 Okumalirira okweggyako ekizuusi.
02 Okusoma bismillah, n'okunaaba engalo emirundi esatu, oluvannyuma okunaaba ebitundu byekyama.
03 Wuzu enzijuvu ng'omusiraamu bwafuna wuzu y'okusaala.
04 Okuyiwa amazzi ku mutwe emirundi esatu, nga gatuuka ku nsibuko y'enviiri ze.
05 Okubunyisa omubiri gwonna amazzi, era n'atandika n'okunaaba oludda lw'omubiri olwa ddyo oluvannyuma olwa kkono, nga kuliko okwekuuta n'emikono amazzi gatuuke ku buli katundu k'omubiri.
Alina 'janaba' aziyizibwa okukola bino okutuusa nga anaabye:
01 Okusaala.
02 Okwetoloola Kaaba.
03 Okulwa mu muzikiti, naye nga akkirizibwa okusalamu busazi nga taluddeemu.
04 Okukwata ku Kulaani.
05 Okusoma Kulaani.
Omusiraamu bwatafuna mazzi geyeetukuza nago, oba naatasobola kukozesa mazzi olw'obulwadde n'ekibufaanana, ate n'atya obudde bw'esswala okumuyitako, mazima atayammama n'ettaka.
Era engeri yaakwo kwekukuba n'ebibatu bye byombi [ku ttaka] olukuba lumu, oluvannyuma naasiiga nabyo ekyenyi kye ne [kungulu kw'] ebibatu bye kwokka. Era ettaka liriko akakwakkulizo k'okuba nga lituvu.
'Okutayammama' kwonooneka n'ebintu bino:
1- Okutayammama kwonooneka n'ebyo ebyonoono wuzu.
2- Amazzi bwegafunika nga 'ibaada' [okusinza] gyetuba tutayammamidde tennatandikibwako.
Allah yalaalika ku musiraamu mu kiro n'emisana esswala ttaano, era nga nazo ze: Fajr ne Dhuhr ne Aswr ne Maghrib ne Isha.
Obudde bw'esswala bwebutuuka omusiraamu yeetukuza okuva eri kizuusi ekitono n'ekizuusi ekinene bwaba nga yafunye ekizuusi ekinene.
Ekizuusi ekinene ky': ekikakasa ku musiraamu okunaaba.
Ekizuusi ekitono ky': ekikakasa ku musiraamu okufuna wuzu.
Omusiraamu asaalira mu ngoye entukuvu mu kifo ekitukuvu awatali bicaafu, nga abisse obwerere bwe.
Omusiraamu yeewunda n'engoye ezigwanidde mu kiseera ky'esswala era n'abikka nazo omubiri gwe, era tekikkirizibwa ku musajja mu swala, kulaga kintu kyonna kw'ebyo ebiri wakati w'ekkundi n'amaviivi.
Kikakata ku mukyala okubikka omubiri gwe gwonna mu swala, okujjako ekyenyi n'ebibatu byombi.
Omusiraamu tayogerera mu swala bigambo bitali ebyo ebigyeyawulidde, era asirika n'awuliriza imamu, era tamagamaga mu swala ye, era nebwalemererwa okukwata ebigambo ebyeyawulidde esswala; ayogera ku Allah [nga amutendereza] n'amusuuta okutuusa lw'amaliriza esswala, era kimukakatako okwanguwa okuyiga esswala n'ebigambo byayo.
Era okusobola okusaala mu ngeri entuufu, nga Allah akkirizza, mazima tugoberera emitendera gino era netugyekwatako:
Omutendera 1: Okumalirira kw'[esswala] eyetteeka eyo gyenjagala okutuukiriza, era ekifo kyakwo mutima.
Bwemmala okufuna wuzu, njolekera 'ekibula' [ewatunulwa nga omuntu asaala, era nga lwe ludda awali kaaba], era nensaala nga nyimiridde bwemba nga nkisobola.
Omutendera 2: Nsitula ebibatu byange okuteebagana n'ebibegaabega n'eŋŋamba: (Allahu akbar) nga mmaliridde okuyingira mu swala.
Omutendera 3: Nsoma edduwa eggulawo esswala mw'ezo ezaayigirizibwa, era muzo by'ebigambo: (Subhaanak' Allahumma wa bihamdika, wa tabaaraka'smuka, wa ta'aalaa jadduka, wa laa ilaaha ghayruka). Omutendera 4: Neewogoma eri Allah okuva eri sitaani eyakolimirwa n'eŋŋamba: (a'udhu billahi min ash-shaytanir-rajim) Omutendera 5: Nsoma Surat al'faatiha mu buli 'raaka', era nga nayo ye: {Alhamdu lillaahi rabbi -l aalamiin * Arrahmaani rrahiim * Maaliki yawmi ddiin* Iyyaaka na-abudu wa-iyyaaka nasta-ein * Ihdina ssiratwa almustaqiim * Swiratwa allathiina an -amta a'layhim ghayri -l maghdoobi a-layhim wala dhwaalliin}
Oluvannyuma ne ŋŋamba: (Aamiin), era amakulu gaakyo: ayi Allah kkiriza.
Nsoma oluvannyuma lwa al'faatiha ekiba kinnyanguyidde mu Kulaani mu laaka esooka n'eyookubiri zokka mu buli swala, era ekyo ssi kyatteeka naye mu kukikola mulimu empeera nnene.
Omutendera 6: ŋamba: (Allahu akbar) oluvannyuma nenkutama okutuusa omugongo gwange lwegutereera, nga n'ebibatu byange biri ku maviivii gange, nga ennwe zeetadde [mulimu amabanga wakati wa zo], oluvannyuma neŋŋamba (awo) mu kukutama: (Subhaana rabbiyal adhwiim) emirundi esatu.
Omutendera 7: Nsituka okuva mu kukutama nga ŋŋamba: (Sami'a Llaahu liman hamidah) nga nsitudde ebibatu byange okuteebagana n'ebibegaabega, era omubiri gwange bwegutereera nga nyimiridde, ŋŋamba: (Rabbanaa walakal hamd)
Omutendera 8: ŋŋamba: (Allahu akbar) nenvunnama ku bibatu byombi n'amaviivi gombi n'ebigere byombi n'ekyenyi n'ennyindo, era neŋŋamba mu kuvunnama kwange: (Subhaana rabbiyal A'alaa) emirundi esatu.
Omutendera 9: ŋŋamba: (Allahu akbar) nenvaayo mu kuvunnama okutuusa lwentereera omugongo, nga ntudde ku kigere ekya kkono, era nga nsimbye ekigere ekya ddyo, era neŋŋamba: (Rabbi ghfirlii) emirundi esatu.
Omutendera 10: ŋŋamba: (Allahu akbar) era nenvunnama omulundi omulala okufaanana oluvunnama olwasoose.
Omutendera 11: Nvaayo mu kuvunnama nga ŋŋamba: (Allahu akbar) okutuusa lwentereera nga nyimiridde, era nenkola mu laaka z'esswala ezisigadde nga bwenkoze mu laaka esooka.
Oluvannyuma lw'eraaka eyookubiri mu swala eya Dhuhr ne Aswr ne Maghrib ne Isha, ntuula nsome tashahhud [Tahiyyaatu] esooka, era nga nayo yeeno: At-tahiyyaatu Lillaahi wa-sswalawaatu wa't-tayyibaatu, as-salaamu 'alayka ayyuha'n-Nabiyyu wa rahmatu -Llaaahi wa barakaatuh. As-salaamu 'alayna wa 'alaa 'ibaadi Llaahi sswaalihiin. ash'hadu allaa ilahaa illa Llaah wa ash'hadu anna muhammadan 'abduhu wa rasuuluh. Oluvannyuma nyimirira okuleeta laaka eyookusatu. Oluvannyuma lw'eraaka esembayo mu buli swala, ntuula nsome tashahhud [Tahiyyaatu] esembayo, era nga nayo yeeno: (At-tahiyyaatu Lillaahi wa-sswalawaatu wa't-tayyibaatu, as-salaamu 'alayka ayyuha'n-Nabiyyu wa rahmatu -Llaaahi wa barakaatuh. As-salaamu 'alayna wa 'alaa 'ibaadi Llaahi sswaalihiin. ash'hadu allaa ilahaa illa Llaah wa ash'hadu anna muhammadan 'abduhu wa rasuuluh. Allaahumma swalli alaa Muhammad wa alaa aali Muhammad, kamaa swallayta alaa Ibrahiima wa alaa aali Ibrahiima, innaka hamiidun mmajiid. Allahumma baarik alaa Muhammad wa alaa aali Muhammad, kamaa baarakta alaa Ibrahiima wa alaa aali Ibrahiima, innaka hamiidu mmajiid)
Omutendera 12: Oluvannyuma lw'ekyo ntoola ssalaamu ku ddyo kwange neŋŋamba: (Assalaamu alaykum warahmatu Llaah) era nentoola ne ssalaamu ku kkono kwange neŋŋamba: (Assalaamu alaykum warahmatu Llaah) nga mmaliridde okufuluma mu swala, era neembeera bwentyo nga ntuukirizza esswala.
Yagamba [Allah] omugulumivu: {Owange ggwe Nabbi gamba bakyala bo ne bawala bo ne bakyala b'abakkiriza beebikkirire nga ebikaaya byabwe, ekyo kye kyanguya okubamanya (nti ba kitiibwa era ba nsa) nebatanakuwazibwa. Bulijjo Katonda muyitirivu wa kusonyiwa era muyitirivu wa kusaasira} [Surat Al-ahzaab: 59].
Allah yakifuula kyatteeka ku mukyala omusiraamu okwebikkirira n'okubikka obwerere bwe n'omubiri gwe gwonna okuva eri abasajja ab'ebbali ku yye, n'ennyambala emanyikiddwa mu ggwanga lye, era takkirizibwa kwejjako kikaaya kye okujjako mu maaso ga bbaawe oba abamuzira, era nga nabo: beebo omukyala omusiraamu baatakkirizibwa kufumbirwa lubeerera, era beeba: (taata n'abamuzaala, n'omutabani ne baazaala, ne baganda ba taata (oba bataata abato), ne bannyina ba maama (oba ba kojja), ne mwannyina, ne mutabani wa muganda we, ne mutabani wa mwannyina, ne bba wa maama, ne ssezaala, awamu n'abamuzaala, ne mutabani wa bba wamu ne baazaala, ne mwannyina mu kuyonka, ne bba w'eyamuyonsa, era okuyonsa kuziza nga ekyo oluganda olw'omusaayi kyeluziza)
Era omukyala omusiraamu yeegendereza mu nnyambala ye amateeka agawerako:
Ekisooka: okubuna [okubikka] omubiri gwonna.
Ekyokubiri: obutabeera mw'ebyo omukyala byayambala okwewunda nabyo bw'abeera nga ali awali abasajja ab'ebbali.
Ekyokusatu: obutabeera lutangaavu nga lulaga omubiri gwe.
Ekyokuna: okubeera nga lugazi nga terumukwata kubaako kyerugeza ku mubiri gwe [nga bwekyakula].
Ekyokutaano: obutabeeramu kawoowo bwaba anaayita awali abasajja ab'ebbali nebatuukibwako okuwunya kw'akawoowo okuva muye.
Ekyomukaaga: obutafaanana byambalo by'abasajja.
Ekyomusanvu: obutafaanana byambalo by'abakyala abatali basiraamu mu kusinza kwabwe n'emikolo gyabwe egy'okusanyuka.
Ekyomunaana: obutabeera kyambalo kya kwelagiramu.
Yagamba [Allah] omugulumivu: {Mazima abakkiriza [abaddala], beebo nga buli Katonda lwayogerwako, emyoyo gy'abwe gitya, era bwe basomerwa ebigambo bye, kibongera obukkiriza, era nga beesiga mukama waabwe}. [Suratul Anfaal: 2]
- Ayogera mazima mu mboozi ze era talimba.
- Atuukiriza omukago n'endagaano.
- Tayonoona bwewabaawo obutakkaanya.
- Akuuma [era atuukiriza] obwesigwa.
- Ayagaliza muganda we omusiraamu ekyo kyeyeeyagaliza.
- Mugabi.
- Alongoosa eri abantu.
- Ayunga oluganda.
- Asiima okugera kwa Allah era n'amwebaza mu mbeera y'obwangu era n'aguminkiriza mu mbeera y'obuzibu.
- Atendebwa n'ensonyi.
- Asaasira ebitonde.
- Omutima gwe teguliimu nge era n'ebiyungo bye tebirina gwe bituusaako bulabe.
- Asonyiwa abantu.
- Talya nfissi(riba) era tagyenyigiramu.
- Tayenda.
- Tanywa mwenge.
- Ayisa bulungi baliraanwa be.
- Talyazaamanya era takumpanya.
- Tabba era tapalappalanya.
- Ayisa bulungi abazadde, nebwebaba ssi basiraamu, era abagondera mu mbeera ezaabulijjo ezimanyiddwa.
- Alera abaana be n'empisa ennungi, era abalagira amateeka g'eddiini, era abaziyiza empisa embi n'ebyonoono.
- Takola byefaanaanyiriza bikolwa by'abatali basiraamu mwebyo ebibeeyawulidde mu ddiini zaabwe oba embeera zaabulijjo ezaafuuka nga zibeeyawulidde era nga kabonero kwebabategeerera.
- Yeenenya eri Allah era n'amusaba okumusonyiwa obukendeevu bwe n'ebyonoono bye.
01 Allah mulezi waffe tewali asinzibwa mubutuufu okuggyako yye, tewali mulezi atali yye, era tewali musinzibwa mutuufu atali yye, era tewali kimufaanana, era tewali kimulemerera, era yye ye muyitirivu w'okuwulira omuyitirivu w'okulaba.
02 Allah eyayawukana era owa waggulu, ali mu ggulu, ali waggulu wa bitonde bye byonna, yeeyawudde kubyo, era obwawaggulu bwe ssibukomeke mu mpuyi zonna, waawaggulu yye nga yye, waawaggulu mu busobozi, waawaggulu mu kukaka, era yye eyayawukana yeetoolodde buli kimu.
03 Tunywezaawo ebyo Allah owa waggulu byeyeekakasaako yye kennyini oba ebyo nnabbi we Muhammad okusaasira n'emirembe bibeere ku yye byeyamukakasaako mu mannya n'ebitendo, era tusambajja ebyo Allah byeyegaanako yye kennyini [nti tabiri] oba nnabbi okusaasira n'emirembe bibeere ku yye byeyagaana ku yye.
04 Allah owa waggulu ayanukula okusaba, era amala ebyetaago, era yennyini buli kimu, era tewali akosa nakugasa okujjako yye, era omuddu talina yadde olutemya lw'eriiso lwabeerawo nga tamwetaaga, era omusiraamu takkirizibwa kwolekeza atali Allah kika kyonna mu bika by'okusinza, ng'okusaala, n'okwetema, n'okusala, n'okutya, n'okusuubira, n'okwesiga, n'ebitali ebyo mu nsiinza ezeeyoleka n'eziteeyoleka, era yenna akyusa ensiinza yonna n'agyolekeza atali Allah owa waggulu abeera agasse ku Allah.
05 Ekyonoono ekisinga okuba eky'amaanyi era [ekyonoono] ekinene ekisinga ebinene byonna kwe kugatta ku Allah, era yenna afiira ku kugatta ku Allah, oyo Allah abeera yamuziyizaako ejjana era obuddo bwe muliro, era kyekyonoono Allah kyatasonyiwa, ssinga omuddu akifiirako naatakyenenya.
06 Ekiyise ku muddu kiba tekyali kya kumutuukako, era ekimutuukako kiba tekyali kya kumuyitako, era kikakata ku musiraamu okukkiririza mu kusalawo kwa Allah n'okugera kwe, n'okusiima okugera kwa Allah owa waggulu okwenjawulo, n'okusuuta omulezi we n'okumwebaza mu mbeera yonna.
07 Muhammad okusaasira n'emirembe bibeere ku yye, nnabbi waffe y'asinga abantu bonna era y'owenkomerero mu ba nnabbi, era ye muwolereza akkirizibwa okuwolereza kwe ku lunaku lw'enkomerero, Allah yamufuula mukwano gwe ow'okulusegere nga bweyafuula [nnabbi] Ibrahim emirembe gibeere ku yye mukwano gwe ow'okulusegere.
08 Ekitabo kyaffe ye Kulaani ey'ekitiibwa, ey'amagero, enkakafu obutuufu bwayo, esomebwa n'ekigendererwa eky'okusinza, Allah owa waggulu yagissa ku nnabbi waffe Muhammad okusaasira n'emirembe bibeere ku yye ng'ayitira mu Jibriil emirembe gibeere ku yye, asinga malayika zonna, era nga Allah owa waggulu yagikuuma [Kulaani] obutakyusibwa, nga bweyagamba [Allah] eyayawukana {Mazima ffe twassa Qura'an era mazima ddala ffe tujja okugikuuma} [Surat al-Hijr: 9]. 09 Abantu abasinga okuba okumpi ne Allah beebasinga okumugondera, era beebasinga okugoberera amateeka ge, era tewali nkizo muwalabu gyalina ku atali muwalabu, yadde atali muwalabu gyalina ku muwalabu, yadde omweru ku muddugavu, yadde omuddugavu ku mweru okujjako nga amukira mu kutya Allah, abantu [bonna] bava mu Adamu, ate Adamu ava mu ttaka, yagamba [Allah] eyayawukana {Mazima abasinga ekitiibwa mu maaso ga Allah; y'oyo abasinga okumutya} [Surat al-Hujraat: 13]
10 Omusiraamu akkiririza mu ba malayika ab'ebitiibwa abawandiisi, era akkiriza okubaawo kwabwe, era [n'akkiriza] nti mazima bbo baddu abatonde, Allah owa waggulu yabatonda: okuva mu kitangaala, era bbo bitonde mu bitonde bya Allah owa waggulu, era mu bo mulimu Jibriil eyakwasibwa ogw'obubaka, ne Miikaa'iilu eyakwasibwa ogw'enkuba, ne Israafiilu eyakwasibwa ogw'okufuuwa mu ŋŋombe, ne Malayika y'okufa eyakwasibwa ogw'okutwala emyoyo gy'abaddu.
11 Omusiraamu akkiririza mu bubonero bw'enkomerero, n'okufulumayo kwa masiihi ddajaali, n'okukka kwa Isa mutabani wa Maryam emirembe gibeere ku yye, okuva mu ggulu mu kiseera ekirisembayo, n'okuvaayo kw'enjuba nga eva bugwanjuba.
12 Omusiraamu akkiririza mu bibonerezo byomu ntaana eri oyo aba abigwanidde, n'ebyengera byomu ntaana eri oyo aba abigwanidde, n'okubuuzibwa kwaa [zi malayika] Munkar ne Nakiiru mu ntaana ye, ku mulezi we, ne ku ddiini ye, ne ku nnabbi we. Era [n'akkiriza] nti mazima entaana nnimiro mu malimiro g'ejjana, oba kinnya mu binnya by'omuliro.
13 Akkiririza mu kuzuukizibwa n'okusasulwa emirimu ku lunaku lw'enkomerero, era nti mazima ejjana n'omuliro byatondebwa byombi era ssibyakuggwaawo lubeerera.
14 Eddogo 'bukaafiiri' (kuwakanya Allah), tekikkirizibwa kuliyiga yadde okugenda eri abalogo n'abasamize, era omusiraamu takkiriza byogerwa mukongozzi yadde omukubi w'ekitabo, era yenna akkiriza byeboogera abeera awakanyizza ebyo ebyassibwa ku Muhammad okusaasira n'emirembe bibeere ku yye.
15 Omusiraamu ayagala ba 'swahaaba' b'omubaka wa Allah okusaasira n'emirembe bibeere ku yye, era ayagala ababaagala, era akyawa ababakyawa, kubanga okubaagala ddiini era kulongoosa, era okubakyawa 'bukaafiiri' na bunnaanfuusi, yagamba okusaasira n'emirembe bibeere ku yye: ( temuvuma nga ba 'swahaaba' bange) yayogerwa Muslim. Era yenna akosa oba akkakkanya omu kuba 'swahaaba' okusiima kwa Allah kubeere ku bbo, abeera mubuze era agunja [mu ddiini].
16 Omusiraamu anywezaawo obusigire oluvannyuma lw'omubaka wa Allah okusaasira n'emirembe bibeere ku yye n'abantu be: okusookera ddala nga bwa Abubakar Swiddiiq Allah amusiime, olw'okusukkulumizibwa kwe n'okusoosowazibwa ku b'ekibiina [ky'obusiraamu] bonna abasigadde, oluvannyuma nga bwa Umar mutabani wa Khattwaab Allah amusiime, oluvannyuma nga bwa Uthmaan Allah amusiime, oluvannyuma nga bwa Ali mutabani wa Abiitwaalib Allah amusiime, era abo beebasigire abanywevu ku mazima era abakulembeze abaaluŋŋamizibwa.
17 Ensinza ziva wa Allah na mubaka we okusaasira n'emirembe bibeere ku yye, kale tekikkirizibwa kusinza Allah owa waggulu na kusinza kwonna okuggyako nga kukakafu mu kitabo kya Allah owa waggulu, oba mu nkola y'omubaka we okusaasira n'emirembe bibeere ku yye, era buli nsiinza egunjibwawo abantu oluvannyuma lw'okufa kwa nnabbi okusaasira n'emirembe bibeere ku yye, nga teyali ku nnuŋŋamya ye [oba enjigiriza ye], [ensiinza] eyo ebeera buzuuzi obuzzibwayo, yagamba [nnabbi] okusaasira n'emirembe bibeere ku yye: (yenna azuula mu nsonga yaffe eno [eddiini] ekitaliimu, kiddizibwayo) yayogerwa Bukhariy.
18 Okukkirizibwa kw'okusinza kwekutte ku mpagi bbiri ez'ekikolo, nga nazo kwe kukola ku lwa Allah owa waggulu mu kusinza, n'eyookubiri kugoberera [njigiriza ya] nnabbi okusaasira n'emirembe bibeere ku yye, mukwo [okusinza], kale okusinza tekukkirizibwa bwekutakolebwa ku lwa Allah yekka, era tekukkirizibwa bwekutabeera ku nnuŋŋamya ya mubaka wa Allah okusaasira n'emirembe bibeere ku yye.
Yagamba [Allah] omugulumivu: {Oyo yenna akola obulingi, k'abe musajja oba mukazi, nga naye mukkiriza, tugenda kumuwangaaliza ddala mu bulamu obulungi era tugenda kubasasulira ddala empeera yaabwe [ku nkomerero] n'okusinga obulungi okusinga ebyo byebaalinga bakola.} [Surat al-Nahli: 97]. Mu bisinga okuyingiza essanyu n'obwanjulukufu n'okwesiima mu mutima gw'omusiraamu; kwekuyungagana okutereevu (direct contact) n'Omulezi we awatali kayungirizi mu balamu, yadde abafu, oba amasanamu. Era Allah owa waggulu yagamba mu kitabo kye eky'ekitiibwa nti mazima yye ali kumpi n'abaddu be lubeerera, abawulira era n'ayanukula okusaba kwabwe, nga bweyagamba [Allah] eyayawukana: {Abaddu bange bwe baba bakumbuuzizzaako [bagambe nti] mazima ndi kumpi [nnyo nabo], nnyanukula okusaba kw'omusabi wonna wansabira. Wabula bateekwa bannyanukule (nga bagondera amateeka gange) era banzikirize balyoke batuuke ku bulungamu.} [Suratul Baqara: 186] Era yatulagira [Allah] eyayawukana okumusaba, era n'afuula ensonga eyo [ey'okumusaba] nga kimu ku nsiinza enkulu ezo omusiraamu z'asembera nazo eri omulezi we, nga bweyagamba [Allah] ow'amaanyi era ow'ekitiibwa: {Mukama katonda wa mmwe yagamba nti: munsabe nja kubaanukula ,mazima abo abeekuza nebatansinza bagenda kuyingira omuliro Jahannamu nga baswavu.} [Suratu Ghaafir: 60] Kale omusiraamu omulongoofu lubeerera aba mwetaavu eri omulezi we, era lubeerera aba ateeka okusaba kwe mu maaso ge, era abeera asembera gyali n'okusinza okulungi.
Era Allah owa waggulu yatuteeka mu nsi muno lwa kigendererwa ekikulu, era teyatutonda awatali mulamwa; era kyekyokumusinza yekka awatali kumugattako, era naatuteerawo eddiini ey'obwakatonda enzijuvu eteekateeka ensonga z'obulamu bwaffe zonna ez'obwa ssekinnoomu n'ezaawamu, era naakuuma ne ssemateeka ono omwenkanya ebiteebeereka by'obulamu, era nga nabyo yeddiini yaffe, n'emyoyo gyaffe, n'ebitiibwa byaffe, n'amagezi gaffe, n'emmaali yaffe, era yenna awangaala nga agoberera amateeka g'eddiini, nga yeewala ebyaziyizibwa, abeera akuumye ebiteebeereka bino, era awangaala musiimu nga mutebenkevu mu bulamu bwe awatali kubuusabuusa.
Okuyungagana kw'omusiraamu n'Omulezi we kwa munda nyo! Kuleeta obutebenkevu n'emirembe mu mwoyo, n'okuwulira obukkakkamu n'obukuumi n'essanyu, n'okuwulira (feeling) okubaawo kw'omulezi eyayitirira ekitiibwa, n'okufaayo kwe n'omukwano gwe eri omuddu we omukkiriza, yagamba [Allah] owa waggulu: {Katonda Ye Nnannyini kweyimirira nsonga z'abakkiriza era Ye mudduukirize waabwe! Abaggya mu bizikiza n'abatwala mukitangaala.} [Surat al-Baqara: 257].
Okuyungagana kuno okw'amaanyi, mbeera ekwata mu mwoyo ereetera omuntu okunyumirwa okusinza omusaasizi [Allah], n'okuyaayaanira okumusisinkana, era n'esitula omutima gwe ppaka mu ggulu ly'okwesiima, ng'awulira obuwoomerevu bw'obukkiriza.
Obuwoomerevu obwo obutasobola kunnyonyolwa buwoomi bwabwo okuggyako oyo eyabukombako nga akola emirimu emirungi n'okwewala ebikyamu, kyekyo lwaki nnabbi Muhammad okusaasira n'emirembe bibeere ku yye agamba: (akombye ku buwoomu bw'obukkiriza oyo eyasiima Allah okuba omulezi [we], n'Obusiraamu okuba eddiini [ye], ne Muhammad okuba omubaka [we]) Yayogerwa Muslim.
Ddala omuntu bwawulira okubeera kwe olubeerera mu maaso g'omutonzi we, n'amumanya n'amannya ge n'ebitendo bye ebirungi, era n'amusinza nga ali nga amulaba, era n'aluubirira [kusiima kwa] Allah mu kusinza kwe, era naatanoonya mu kusinza kwe kitali Allah eyayitirira ekitiibwa, awangaala obulamu obulungi obw'essanyu ku nsi, n'okufundikira okulungi ku nkomerero.
Gw'ate n'ebizibu ebituuka ku mukkiriza mu nsi, era mazima olubabu lwabyo luvaawo n'obunnyogovu bw'okukakasa [Allah], n'okusiima okugera kwa Allah owa waggulu, n'okumutendereza ku buli kugera kwe kwonna, okulungi kwakwo n'okubi kwakwo, era n'okusiima okujjuvu ku kwo.
Era mwebyo omusiraamu byasaanye okussaako essira, okwesiima kwe n'obutebenkevu bwe byeyongere obungi, kwekwogera kwe ennyo ku Allah owa waggulu, n'okusoma kwe Kulaani ey'ekitiibwa, nga bweyagamba [Allah] owa waggulu: {Abo abakkiriza era nga gifuna obutebenkevu emitima gyabwe olw'okwogera ku Katonda. Abange mazima ku lw'okwogera ku katonda emitima gitebenkera.} [Surat al-Ra'ad: 28] Era omusiraamu buli kwogera kwe ku Allah bwe kweyongera, n'okusoma kwe Kulaani, okuyungagana kwe ne Allah owa waggulu kweyongera, omwoyo gwe negutukula, n'obukkiriza bwe ne buba bwamaanyi. Nabwekityo kigwana omusiraamu okufaayo okuyiga ensonga z'eddiini ye okuva mu nsibuko entuufu; asobole okusinza Allah owa waggulu nga asinziira ku kumanya, kubanga yagamba nnabbi okusaasira n'emirembe bibeere ku yye: (okunoonya okumanya kyatteeka ku buli musiraamu) Yayogerwa Ibun Maajah, Era abeere nga yeewaayo era nga agoberera amateeka ga Allah owa waggulu oyo eyamutonda, ssi nsonga ategedde ekigendererwa mugo oba tategedde, kubanga yagamba [Allah] owa waggulu mu kitabo kye eky'ekitiibwa: {Era tekigwana eri omukkiriza omwami wadde omukkiriza omukyala bw'Aba nga Katonda n'omubaka we basazeewo ensonga yonna, okubeera ne babanga bbo ate basiimayo ekirala eky'okukola mu nsonga zabwe [ekitali katonda n'omubaka we kye basazeewo]. Era oyo ajeemera Katonda n'omubaka we mazima aba abuze olubula olweyolefu.} [Suratul Ahzaab: 36].
era okusaasira n'emirembe bibeere ku nnabbi Muhammad, ne ku bantu b'ennyumba ye ne ba 'Sswahaaba' be bonna
[Ekitabo] ekifunze ekigasa omusiraamu
Ekigendererwa mu kutonda abaddu
Nabbi wange Muhammad okusaasira n'emirembe bibeere ku yye
Muhammad okusaasira n'emirembe bibeere ku yye, eky'okusaasira eky'okuluŋŋamya:
Mu bitendo bye okusaasira n'emirembe bibeere ku yye:
Kulaani ey'ekitiibwa bigambo bya Mulezi wange
Omutendera ogusooka: Obusiraamu
Empagi ey'okubiri: okuyimirizaawo esswala.
Empagi eyookusatu: okutoola 'zzaka'.
Empagi eyookuna: Okusiiba omwezi gwa lamanzaani.
3Empagi eyookutaano: Okulamaga ku nyumba ya Allah ey'emizizo.
Omutendera ogwokubiri: obukkiriza
Empagi esooka: Okukkiriza Allah
Empagi eyookubiri: okukkiririza mu ba malayika.
Empagi eyookusatu: okukkiririza mu bitabo
Empagi eyookuna: Okukkiririza mu babaka.
Empagi eyookutaano: okukkiririza mu lunaku lw'enkomerero.
Empagi eyoomukaaga: okukkiriza okugera, okulungi n'okubi.
Omutendera ogwokusatu: Okulongoosa
Okusiiga ku 'khuffu' ne sitookisi
'Okutayammama' [okwetukuza n'ettaka]
Enneebikkirira y'omukyala omusiraamu
Ebikolo ebikulu mu nzikiriza y'omusiraamu
Okwesiima kwange kuli mu ddiini ya busiraamu