Description
Ekitabo kino kyawandiikibwa Shk. Muhammadi Al miin bun Al mukhtaar Alshinqeet, era nga yannyonnyo mukyo obujjuvu bwe ddiini y’obusiraamu era nga yabunnyonnyolera munsonga kumi
Ebivvunuddwa ebirala 16
KYAWANDIIKIBWA:
SHK. MUHAMMAD AL AMIIN BUN MUKHUTAAL ALSHINQEET
KIVVUNUDDWA:
FAROOQ ABDULNOOR NTANDA
KYEKENENYEDDWA:
ABDULRAHMAAN IBRAHIIM MUKISA
Amatendo gonna amalungi era amajjuvu ga Allah omulezi w'ebitonde. Tumusaba asse okusaasira n'emirembe ku mubaka Muhammad (s.a.w) ne kub'ennyumba ye neba swahaaba be, nabuli muntu yenna alagirira empisa ennungi okutuusa Allah lwalizingako ensi eno. Omusomo guno gwasomesebwa mu muzikiti gwa Nabbi emadiina oluvannyuma lw'okusaba kwa Kabaka we Morocco, bwatyo Sheikh Muhammadi Al Amiin Bun Mukhutaar Al Shinqeet yayanukula okusaba kwa kabaka oba olyawo Abasiraamu baganyulwa mugwo Allah namuwaamu empeera ennungi. Allah owekitiibwa y'agamba mu Qur'aan:
ﭧ ﭨ ﭽ ﱫ ﱬ ﱭ ﱮ ﱯ ﱰ ﱱ ﱲ ﱳ ﱴ ﱵﱶ ﲂ ﭼ المائدة: ٣
{Olwaleero mbajjulizza eddiini yammwe era ne mbajjuliza n'ekyengera kyange, ne mbasiimira mmwe obusiiramu okuba eddiini.}
Olunaku olwo lwali lwa Arafat kulwokutaano mu hijja Nabbi (s.a.w) eyasembayo, a'ya eyekitiibwa eyo yassibwa nga Nabbi (s.a.w) ayimiridde mu lusenyi Arafat akawungezi k'olunaku olwo. Era Nabbi yawangaala oluvannyuma lw'okussibwa kwayo ebiro kinaana mukimu (81). Allah yalangirira mu a'ya eyo nti ajjuza kuffe eddiini, nga terikendeera emirembe n'emirembe era teyeetagisa kwongeramu kintu kyonna olubeerera eyo y'ensonga lwaki yafundikira ba Nabbi be (okusaasira kwa Allah n'emirembe bibeere kubo bonna) n'omubaka Muhammadi (s.a.w). era Allah n'alangirira nti atusiimidde obusiraamu okubeera eddiini yaffe talibusunguwalira olubeerera era eyo yensonga lwaki yakyasanguza nti talina ddiini ndala yonna gyakkiriza eri omuntu yenna etali busiraamu. Allah y'agamba:
ﭧ ﭨ ﭽ ﱟ ﱠ ﱡ ﱢ ﱣ ﱤ ﱥ ﱦ ﱧ ﱨ ﱩ ﱪ ﱫ ﱬ ﭼ آل عمران: ٨٥
{N'omuntu yenna anoonya obutali Busiraamu okugifuula eddiini, siya kukkirizibwa kuva gy'ali naye kulunaku lw'enkomerero aliba wa mu bafaafaaganiddwa}.
Era n'agamba nti:
ﭧ ﭨ ﭽ ﱨ ﱩ ﱪ ﱫ ﱬﱭ ﲄ ﭼ آل عمران: ١٩
{Mazima eddiini (ebalwa) awali Allah bwe busiraamu}. Era nga mukujjuza eddiini n'okunnyonnyola amateeka g'ayo gonna kyengera kinene kuno kunsi ne kunkomerero. Yensonga lwaki y'agamba nti:
ﭧ ﭨ ﭽ ﱯ ﱰ ﱱ ﲂ ﭼ المائدة: ٣
{ Era ne mbajjuliza n'ekyengera kyange }.
A'ya eyekitiibwa eyo bujulizi obweyolefu obulaga nti eddiini y'obusiraamu teyalekayo kintu kyonna omuntu kyeyetaaga kunsi ne kunkomerero okujjako nga yakyanjuluza era n'ekinnyonnyola kakibe ki.
Na bwekityo omusomo gwaffe guno gugenda kutambulira ku kunnyonnyola ensonga kumi (10) enkulu ennyo ezitambulirwako obulamu bwaffe obwa bulijjo kuno kunsi muno. Era nga ze zino wammanga.
Oluvannyuma lw'okwekenneenya Qur'aan kyeyoleka bulungi era ne kimanyikwa nti Tawuhiid atekululwamu emiteeko esatu (3) .
1: OKWAWULA ALLAH MUBULEZI BWE
Omuteeko gwa Tawuhiid guno okugumanya kyamubububwa bw'abantu era nga gumanyiddwa buli muntu yenna alina amagezi. Allah y'agamba:
ﭧ ﭨ ﭽ ﲿ ﳀ ﳁ ﳂ ﳃ ﳄﳅ ﳆ ﳇ ﳈ ﭼ الزخرف: ٨٧
{Naye bw'oba nga obabuuzizza, nti ani yabatonda? Bajja kukugambira ddala nti: Allah. Kale ngeri ki bwe bakyuuka (ne bava ku kusinza Allah eyabatonda ate ne basinza ebitali ye)}.
Era n'agamba:
ﭧ ﭨ ﭽ ﲩ ﲪ ﲫ ﲬ ﲭ ﲮ ﲯ ﲰ ﲱ ﲲ ﲳ ﲴ ﲵ ﲶ ﲷ ﲸ ﲹ ﲺ ﲻ ﲼ ﲽ ﲾﲿ ﳀ ﳁﳂ ﳃ ﳄ ﳅ ﳆ ﭼ يونس: ٣١
{Bagambe (gwe Muhammad) nti: Ani abagabirira okuva mu ggulu ne mu nsi? (oba) ani afuga okuwulira n'okulaba? Era ani aggya ekiramu mu kifudde era n'aggya ekifudde mu kiramu era n'alabirira ebigambo (ensonga zonna)? Bajja kugamba nti: Allah omutonzi (y'akola ebyo byonna) olwo bagambe nti: Abaffe temutya?}.
A'yaat ezigwa muttuluba eryo nyingi nnyo. Era nga okwebulankanya n'okutamwa kwa Falaawo eri omuteeko gwa Tawuhiid guno nga bwekiri mu A'ya egamba nti:
ﭧ ﭨ ﭽ ﱝ ﱞ ﱟ ﱠ ﱡ ﱢ ﭼ الشعراء: ٢٣
{Fir'auna (Falaawo) n'agamba nti: Ani oyo (Katonda) omulezi w'ebitonde?}.
Kyaliwo mu mbeera yakwekuza na kwebuguyaza olw'obujulizi obugamba nti:
ﭧ ﭨ ﭽ ﲭ ﲮ ﲯ ﲰ ﲱ ﲲ ﲳ ﲴ ﲵ ﲶ ﲷ ﲼ ﭼ الإسراء: ١٠٢
{(Musa) n'agamba (Fir'auna) nti: Mazima omanyi tewali assizza (by'amagero) bino wabula omufuzi w'eggulu n'ensi nga bujulizi (obulaga amazima g'ebyo bye nkuletedde)}.
Ne A'ya egamba nti:
ﭧ ﭨ ﭽ ﱁ ﱂ ﱃ ﱄ ﱅ ﱆﱇ ﱈ ﱉ ﱊ ﱋ ﱌ ﱍ ﭼ النمل: ١٤
{Ne babuwakanya, sso nga emyoyo gyabwe gibukakasizza (nti bw'amazima), nga babuwakanya mubulyazamaanyi n'olw'okwekuluntaza kale tunuulira engeri bwe yali enkomerero y'abo abonoonyi}.
Era y'esonga lwaki A'yaat ezakkanga kumuteeko guno ogwa Tawuhiid (okwawula Allah mubulezi bwe) zajjiranga mumbeera yakukkatiriza n'okwebuzaganya oba waliwo alina okubuusabuusa kwekyo. Okugeza nga Allah byeya'gamba nti:
ﭧ ﭨ ﭽ ﲟ ﲠ ﲡ ﲢ ﲣ ﲤ ﲥ ﲦ ﲧﲨ ﲩ ﲪ ﲫ ﲬ ﲭ ﲮ ﲯ ﲰ ﲱﲲ ﲳ ﲴ ﲵ ﲶ ﲷ ﲸ ﲹ ﲺ ﲻ ﲼ ﲽ ﲾ ﲿ ﳀ ﳁ ﳂ ﳃ ﭼ إبراهيم: ١٠
{Baabagamba ababaka (abaatumwa gye bali): Mubuusabuusa mu Katonda (okuba nti ali omu oyo) omutonzi w'eggulu n'ensi? Abayita alyoke abasonyiwe ebibi byammwe era abalindirize (okutuusa) eri ebbanga eggere (ery'okufa). Nebagamba nti: Temuli mmwe wabula abantu nga ffe, mwagala okutuziyiza mwebyo bakadde baffe bye baali basinza? Kale mutuleetere obujulizi obweyolefu (obulaga amazima gammwe)}.
Era n'agamba:
ﭧ ﭨ ﭽ ﲶ ﲷ ﲸ ﲹ ﲺ ﲻ ﲼ ﲽ ﲾﲿ ﳖ ﭼ الأنعام: ١٦٤
{Gamba (abakwawukanako) nti: Atali Allah omutonzi gwe mba nnoonya okuba mukama wange, nga naye yemulezi wabuli kintu?}
Era n'agamba:
ﭧ ﭨ ﭽ ﱮ ﱯ ﱰ ﱱ ﱲ ﱳ ﱴﱵ ﲟ ﭼ الرعد: ١٦
{Bagambe (gwe Muhammad) nti: Ani omufuzi w'eggulu n'ensi? Ddamu obagambe nti: Allah}
Ne a'yaat endala eziringa ezo kubanga baalinga bamanyi omuteeko gwa Tawuhiid guno.
Omuteeko guno (ogwokwawula Allah mubulezi bwe) olw'okuba nti okugumanya kyamubububwa bw'abantu, Abakaafiiri tegwabagasa olwokuba nti tebayawula Allah mukumusinza, nga Allah bwagamba nti:
ﭧ ﭨ ﭽ ﱙ ﱚ ﱛ ﱜ ﱝ ﱞ ﱟ ﱠ ﭼ يوسف: ١٠٦
{Abasinga obungi mubo tebakkiriza Allah (mu kumwawula) wabula (bamukkiriza) nga nabo bamugattako n'ebintu ebirala}.
Era n'agamba:
ﭧ ﭨ ﭽ ﱶ ﱷ ﱸ ﱹﱺ ﱻ ﱼ ﱽ ﱾ ﱿ ﲀ ﲁ ﲂ ﲃ ﲄ ﲅ ﲆ ﲙ ﭼ الزمر: ٣
{Abange ya Katonda (yekka) eddiini entukuvu. N'abo abeeterawo abayambi abatali ye (Katonda bagamba) nti: Tetubasinza abo wabula balyoke batusembeze okumpi n'eri Katonda.}
Era n'agamba nti:
ﭧ ﭨ ﭽ ﲚ ﲛ ﲜ ﲝ ﲞﲟ ﲠ ﲡ ﲢ ﲣ ﲤ ﲥ ﲦ ﲧ ﲨ ﲩ ﲪﲫ ﲬ ﲭ ﲮ ﲯ ﲰ ﭼ يونس:
{Bagamba nti: Abo be bawolereza baffe awali Allah. Bagambe nti: Mutegeeza Allah ebyo by'atamanyi, muggulu wadde mu nsi? Ya yawukana Allah n'agulumira kw'ebyo bye mu mugattako}.
2. OKWAWULA ALLAH MUKUMUSINZA.
Omuteeko gwa tawuhiid guno gwegwaliko kalumanywera wakati w'ababaka nabagoberezi baabwe, era nga ababaka bonna baatumwa lwakutuukiriza kwawula Allah mukumusinza era nga kyekinyusi kyamakulu g'ekigamba kya Laa ilaaha illa Allah, ekizimbiddwa ku misingi ebiri: Okumenyawo kyonna ekisinzibwa ekitali Allah, n'okukakaza nti Allah yekka yasinzibwa nga bwekiri mukigamba kya Laa ilaaha Illa Allah ekitegeeza nti tewali kisinzibwa mubutuufu okujjako Allah yekka. Amakulu agali mukugamba nti: Tewali kisinzibwa kirala kwekwambula ebintu by'onna ebitali Allah akakisa konna akokusinzibwa n'omuteeko gwonna mu miteeko gy'okusinza. Ate okukakasa nti Allah yekka yasinzibwa kuba kumwawula mu miteeko gy'onna egy'okusinza mumbeera esanidde ekitiibwa kye nga bweyatulagira tumusinze mu Qur'aan. Allah y'agamba:
ﭧ ﭨ ﭽ ﱤ ﱥ ﱦ ﱧ ﱨ ﱩ ﱪ ﱫ ﱬ ﱭ ﱮﱯ ﲂ ﭼ النحل: ٣٦
{Era mazima twatuma nga mu buli kibiina omubaka (abalagire nti:) musinze Katonda mwekeke (okusinza) ab'obulimba}.
Era n'agamba:
ﭧ ﭨ ﭽ ﱁ ﱂ ﱃ ﱄ ﱅ ﱆ ﱇ ﱈ ﱉ ﱊ ﱋ ﱌ ﱍ ﱎ ﱏ ﱐ ﭼ الأنبياء: ٢٥
{(Sso nga) tetwatuma oluberyeberye lwo mubaka yenna wabula nga tumutumira (tugamba) nga mazima bwe watali Katonda (mulala) wabula Nze Nzekka, kale munsinze (nga munjawula mu Bwakatonda – temungattako mulala)}
ﭧ ﭨ ﭽ ﳙ ﳚ ﳛ ﳜ ﳝ ﳞ ﳟ ﳠ ﳡ ﳩ ﭼ البقرة: ٢٥٦
{Omuntu yenna awakanya sitaane nabuli kyonna ekimuggya kubulunngamu nakkiriza Katonda (namwawula mu bwakatonda bwe n'atamugattako kintu kirala) mazima aba yekutte ku nngango enngumu etalina ku kutuka}.
Era n'agamba:
ﭧ ﭨ ﭽ ﲭ ﲮ ﲯ ﲰ ﲱ ﲲ ﲳ ﲴ ﲵ ﲶ ﲷ ﲸ ﲹ ﲺ ﭼ الزخرف: ٤٥
{Buuza (Gwe Muhammad) Abo be twatuma oluberyeberye lwo mu babaka baffe nti: Twateekawo abalala abatali Katonda Omusaasizi (nga) ba Katonda abasinzibwa?}
Era n'agamba:
ﭧ ﭨ ﭽ ﲆ ﲇ ﲈ ﲉ ﲊ ﲋ ﲌ ﲍﲎ ﲏ ﲐ ﲑ ﲒ ﭼ الأنبياء: ١٠٨
{Bagambe nti: Mazima ntumirwa nze (mbagambe nti) ddala Omusinzibwa wammwe ye Katonda Ali omu. Abaffe mmwe mugoberedde ne mwewaayo eri Ye (Musiramuse)?}
Era a'yaat kunsonga eno nyingi nnyo.
3. OKWAWULA ALLAH MU MANNYA GE NE MUBITENDO BYE.
Omuteeko guno ogwa tawuhiid guzimbiddwa kubikolo bibiri nga Allah bwe yatunnyonnyola:
Ekisooka: Otukukuza Allah obutamufaanaganya na bitendo bya bitonde (eby'okusaana wo).
Ekyokubiri: Kwekukkiriza buli kitendo kyonna Allah kyeyetenda nakyo ye kennyini oba Omubaka we (s.a.w) kyeyamutenda nakyo mubwennyini bwakyo mumbeera egwanidde obujjuvu bwe n'ekitiibwa kye. Ate nga kimanyiddwa nti tewali asinga Allah kwetenda n'okumanya kiki kyaali ye kennyini, era tewali ayinza kutenda Allah oluvannyuma (lwe okwetenda) okusinga Omubaka (s.a.w). Kyova olaba Allah yeyogerako n'agamba nti:
ﭧ ﭨ ﭽ ﲳ ﲴ ﲵ ﲶﲷ ﳆ ﭼ البقرة: ١٤٠
{Abaffe mmwe musinga Allah okumanya?}
Era n'agamba Allah ku Mubaka (s.a.w) nti:
ﭧ ﭨ ﭽ ﱋ ﱌ ﱍ ﱎ ﱏ ﱐ ﱑ ﱒ ﱓ ﱔ ﱕ ﭼ النجم: ٣ - ٤
{Era tayogera (ebyo byabagamba) nga aggya kukwagala kwe *** Teriyo (Qur'aan eyo gy'abasomera) wabula bubaka obuweerezebwa (gy'ali nga buva eri Allah)}.
Allah owekitiibwa y'annyonnyola n'atugamba nti tewaliwo kimufaanana kyonna bweyagamba nti:
ﭧ ﭨ ﭽ ﭠ ﱐ ﱑ ﱒﱓ ﱗ ﭼ الشورى: ١١
{Tewali kintu nakimu kifaanana nga ye}. Ate era mungeri y'emu n'annyonnyola nga yekakasaako ebitendo bye mubwennyini bwabyo n'agamba nti:
ﭧ ﭨ ﭽ ﱔ ﱕ ﱖ ﱗ ﭼ الشورى: ١١
{Era Naye awulira alaba}.
A'ya esooka etulaga nti tetulina kumujjako bitendo bye, nekiba nga kyeyoleka bulungi nti kyatteeka gyetuli okukakasa ebitendo bye mubwennyni bwabyo nga tetumufaananyizza kintu kilala kyonna, songa ate n'obutamufaananya nabirala tekitegeeza kumajjako bitendo bye. Era Allah yatunnyonnyola nga ebitonde bwebitasobola ku mwetoolola kumanya bimufaako n'agamba nti:
ﭧ ﭨ ﭽ ﲯ ﲰ ﲱ ﲲ ﲳ ﲴ ﲵ ﲶ ﲷ ﲸ ﲹ ﭼ طه: ١١٠
{(Allah) Amanyi ebyo (byona) ebiri mu maaso gaabwe n'ebiri emabega waabwe, sso nga bo tebabyetoolodde kumumanya ye (ebimufaako)}.
Abamanyi bonna begatta ne bagamba nti tewali mubuulirize Allah gwe yassa kunsi okuva muggulu asinga amaanyi n'obunene nga Okwebulirira n'omanya nti omuleziwo Allah akulaba era akulondoola mubuli kimu kyokola, era amanyi buli kimu ekyeyolefu n'ekikusike. Abamanyi baffe bakuba ekifaananyi kumubuulirize oyo ow'amaanyi eri abo abalina okufumintiriza ne b'agamba nti: Singa wabaawo kabaka (omufuzi) nga amanyiddwa okuba nti kanywa musaayi, atta buli musajja (amwegezaamu), nga mukambwe ebitagambika alina buli kyakulanyisa eky'omulembe, naye nga alina abakyala n'abaana ab'obuwala, olowooza wayinza okubaawo omusajja yenna eyeetantala okusemberera bawalabe oba bakyala be abakoleko ebikolwa ebikyamu nga naye akimanyi bulungi nti kabaka oyo amutunuulidde? Nsuubira nti nedda, Naye ate Allah y'asinga okuba waggulu mubuli kimu, kubanga abantu bonna mukiseera ekyo baba kubunkeeke nga batya eri emyoyo gyabwe ku biki ebiyinza okubatuuka ko (singa basobya eri kabaka oyo), Katinno nabwekityo tusaanye okukimanya nti Allah owekitiibwa yasinga okulaba n'okumanya ebyo byetukola okusinga Kabaka afaananako ng'oyo, era yasinga okuba n'olukwata olw'amanyi n'okufaayo ennyo okukuuma ensi ye eri ebyo ebizira muyo. Singa abantu ku kyalo bamanyi nti byonna bye baakoze ekiro muttuumbi Omukulembeze waabwe yabitegedde, bajja gyaali nga bonna bawotofu, batidde kuki ekiyinza okuddirira era nebalekayo buli kimu olw'okumutya. Allah owekitiibwa yannyonnyola n'agamba nti ekyagengererwa mukutonda ebitonde nti kubigezesa okulaba ani asinga okulongoosa n'agamba nti:
ﭧ ﭨ ﭽ ﱐ ﱑ ﱒﱓ ﱗ ﭼ الملك: ٢
{Ani mu mmwe asinga okukola obulungi}.
Era n'agamba kuntandikwa ya Surat Huudu nti:
ﭧ ﭨ ﭽ ﱔ ﱕ ﱖ ﱗ ﱘ ﱙ ﱚ ﱛ ﱜ ﱝ ﱞ ﱟ ﱠ ﱡ ﱢ ﱣﱤ ﱴ ﭼ هود: ٧
{Era Ye y'oyo eyatonda eggulu n'ensi mu nnaku mukaaga – Arushi ye yali nga eri kumazzi- Alyoke abagezese (alabe) ani mu mmwe asinza omulimu omulungi }. Wabula teyagamba nti “Ani mu mmwe asinga emirimu emingi".
Ate mu Surat Muluku n'agamba nti:
ﭧ ﭨ ﭽ ﱋ ﱌ ﱍ ﱎ ﱏ ﱐ ﱑ ﱒﱓ ﱔ ﱕ ﱖ ﱗ ﭼ الملك: ٢
{Oyo eyatonda okufa n'obulamu alyoke abagezese (alabe) ani mu mmwe asinga okukola obulungi (akola kululwe) Naye ye Owekitiibwa Omusonyiyi (kw'oyo eyenenyezza)}.
Aya ebbiri ezo zinnyonnyola bulungi ekigendererwa mu A'ya egamba nti:
ﭧ ﭨ ﭽ ﱣ ﱤ ﱥ ﱦ ﱧ ﱨ ﱩ ﭼ الذاريات: ٥٦
{Saatonda amageege n'abantu (kunkolera kirala kyonna) wabula ku lwa kunsinza (atenga n'omugaso gw'okunsinza okwo gudda gyebali)}.
Bwekyamala okuba nti ekinyusi ekikulu mukutonda ebitonde kubigezesa (na mirimu mirungi), Malayika Jibriir ya yagala okunnyonnyola abantu ekkubo eryo kuyita ekigezo kino, bweyajja awali Nabbi (s.a.w) n'amugamba nti: “ Mbuulira ku kulongoosa kubanga omuntu kyeyatonderwa okugesebwa nakyo. Nabbi (s.a.w) n'annyonnyola nti ekubo ly'okulongoosa yemubuulirize ow'amanyi ali mubigambo bino “ Okulongoosa kwe kusinza Allah nga naawe olinga amulaba, newankubadde nga gwe tomulaba mazima ddala ye akulaba". Era y'ensonga lwaki toyinza kubikkula lupapula lwa Qur'aan lwonna okujjako nga omubuulirize oyo ow'amaanyi omusangamu.
Allah y'agamba:
ﭧ ﭨ ﭽ ﱁ ﱂ ﱃ ﱄ ﱅ ﱆ ﱇ ﱈﱉ ﱊ ﱋ ﱌ ﱍ ﱎ ﱏ ﱐ ﱑ ﱒ ﱓ ﱔ ﱕ ﱖ ﱗ ﱘ ﱙ ﱚ ﱛ ﱜ ﱝ ﱞ ﱟ ﱠ ﱡ ﱢ ﭼ ق: ١٦ - ١٨
{Mazima twatonda omuntu era tumanyi ekyo kye gyalabankanyizibwa nakyo omwoyo gwe, naffe tuli kumpi (nnyo ddala) naye okusinga omusuwa gwe ogw'omu bulago ** Mukiseera bwe bamuggyako (obuwandiike) bamalaika (ababiri abalaalikwa okumukuuma) abawandiise (nga bakakasa emirimu gye) nga omu ali ku ddyo nga n'omulala ali ku kkono (we) nga batudde (bawandiika emirimu gye), ** Tayatula kigambo kyonna wabula nga w'ali waliwo malaika Rakiibu ne Atiidu (alindiridde obulindaala okukiwandiika)}.
Era Allah n'agamba:
ﭧ ﭨ ﭽ ﲀ ﲁ ﲂﲃ ﲄ ﲅ ﲆ ﲇ ﭼ الأعراف: ٧
{Tugenda kubategeeza ddala (bye baakola) nga tuggya ku kumanya, kuba tetwali bataaliwo (wadde akaseera akatono nga babikola)}
ﭧ ﭨ ﭽ ﲶ ﲷ ﲸ ﲹ ﲺ ﲻ ﲼ ﲽ ﲾ ﲿ ﳀ ﳁ ﳂ ﳃ ﳄ ﳅ ﳆ ﳇ ﳈ ﳉﳊ ﳋ ﳌ ﳍ ﳎ ﳏ ﳐ ﳑ ﳒ ﳓ ﳔ ﳕ ﳖ ﳗ ﳘ ﳙ ﳚ ﳛ ﳜ ﳝ ﳞ ﳟ ﳠ ﳡ ﭼ يونس: ٦١
{Tobeera (gwe Muhammad) na mulimu gwonna gw'okola era tosoma (kitundu kyonna) muyo Qur'aan, era temukola mu mulimu gwonna (kitundu), wabula tubeera abajulizi ku mmwe mu kiseera we muyingirira mu gwo (omulimu ogwo). Era tekyesamba ku mukama wo kintu kyonna (ne bwe kiba nga) mu kigero ky'akanyinkuuli nga kiri munsi oba mu ggulu oba kitono okusinga awo wabula nga kiri mukitabo ekinnyonnyofu}.
Era Allah y'agamba:
ﭧ ﭨ ﭽ ﳀ ﳁ ﳂ ﳃ ﳄ ﳅﳆ ﳇ ﳈ ﳉ ﳊ ﳋ ﳌ ﳍ ﳎ ﳏﳐ ﳑ ﳒ ﳓ ﳔ ﳕ ﭼ هود: ٥
{Abange mazima bo bakweka ebifuba byabwe balyoke bamwekweke Katonda? Abange mu kiseera bwe beebikka engoye zaabwe, (Katonda aba) amanyi ebyo bye bakisa n'ebyo bye boolesa. Mazima ye Katonda amanyi ebiri mu bifuba (by'abantu)}.
Ne a'yaat endala eziringa ezo nyingi mu Qur'aan.
Qur'aan ey'ekitiibwa y'annyonnyola nti omulimu omulungi gwegwo ogutukirizza ebintu bisatu, era singa ekimu kubyo kibula mugwo nannyini gwo tagenda kugufunamu mpeera yonna kulunaku lwenkomerero.
Ekisooka:Okuba nti omulimu ogwo gukwatagana bulungi n'enjigiriza y'omubaka (s.a.w) kubanga Allah yatugamba nti:
ﭧ ﭨ ﭽ ﲐ ﲑ ﲒ ﲓ ﲔ ﲕ ﲖ ﲗﲘ ﲠ ﭼ الحشر: ٧
{N'ekyo kyonna omubaka ky'abaleteranga oba kyabawa mukitwalenga, N'ekyo ky'abagananga mukirekengayo (mukyewalenga)}
Era n'agamba nti:
ﭧ ﭨ ﭽ ﱁ ﱂ ﱃ ﱄ ﱅ ﱆﱇ ﱎ ﭼ النساء: ٨٠
{Omuntu bwagondera Omubaka aba agondedde Allah}.
Era n'agamba:
ﭧ ﭨ ﭽ ﱞ ﱟ ﱠ ﱡ ﱢ ﱣ ﱭ ﭼ آل عمران: ٣١
{Gamba (abantu gwe Muhammad) nti: Bwemuba mwagala Allah mungoberere..}.
Era n'agamba:
ﭧ ﭨ ﭽ ﲝ ﲞ ﲟ ﲠ ﲡ ﲢ ﲣ ﲤ ﲥ ﲦ ﲧ ﲨﲩ ﲵ ﭼ الشورى: ٢١
{Abaffe, balina bakatonda (baabwe), ababalaalika mu ddiini ekyo Katonda kyatakkiriza?}
Era n'agamba:
ﭧ ﭨ ﭽ ﲘ ﲙ ﲚﲛ ﲜ ﲝ ﲞ ﲟ ﲠ ﭼ يونس: ٥٩
{Abaffe Katonda ye yabakkiriza oba mugunjawo bulimba ku Katonda?}.
Ekyokubiri: Omulimu ogwo gulina okubanga gukoleddwa ku lwa Allah yekka, kubanga Allah y'agamba:
ﭧ ﭨ ﭽ ﲬ ﲭ ﲮ ﲯ ﲰ ﲱ ﲲ ﲳ ﲽ ﭼ البينة: ٥
{Era tebaalagirwa kintu kirala kyonna (kukisinza) wabula basinze Allah oyo ali omu yekka omutonzi nga batukuza eddiini kululwe (obutamugatta nakintu kirala kyonna mu ku musinza ne mu bwakatonda bwe)}.
Era n'agamba:
ﭧ ﭨ ﭽ ﱁ ﱂ ﱃ ﱄ ﱅ ﱆ ﱇ ﱈ ﱉ ﱊ ﱋ ﱌ ﱍ ﱎ ﱏ ﱐ ﱑ ﱒ ﱓ ﱔ ﱕ ﱖ ﱗ ﱘ ﱙ ﱚ ﱛ ﱜ ﱝ ﱞ ﱟ ﱠ ﱡ ﱢ ﱣ ﱤ ﱥ ﱦﱧ ﱨ ﱩ ﱪ ﱫ ﱬ ﱭ ﱮ ﱯ ﱰﱱ ﱲ ﱳ ﱴ ﱵ ﱶ ﱷ ﭼ الزمر: ١١ – ١٥
{Gamba (gwe Muhammad) nti: mazima nze ndagiddwa okusinza Allah (mbeere) nga ntukuza eddiini ku lulwe (yekka awatali kumugattako kintu kirala oba okukola bandabe) ** Era ndagiddwa okubeera ow'oluberyeberye mu Basiraamu (abeewaayo eri ye) ** Gamba nti mazima nze ntya bwemba nga njeemedde Mukamawange ebibonyobonyo by'olunaku olunene** Gamba nti Allah gwe nsinza nga ntukuza ku lulwe (yekka) eddiini yange ** Kale (mmwe) musinze bye mwagala ebitali ye (era) bagambe nti: Mazima abafiiriddwa be bo abaafiirwa emyoyo gyabwe n'abantu baabwe ku lunaku lw'okuyimirira (mu maaso ga Allah). Abange okwo kwo kwekufiirwa okweyolefu!}.
Ekyokusatu: Okuba nga (omulimu ogwo) guzimbiddwa ku musingi gw'enzikiriza entuufu kubanga omulimu (omuntu gw'akola) gulinga bwolaba akasolya kennyumba ate enzikiriza nga gwe musingi (ogukawaniridde). Allah y'agamba:
ﭧ ﭨ ﭽ ﱯ ﱰ ﱱ ﱲ ﱳ ﱴ ﱵ ﱶ ﱷ ﱸ ﱿ ﭼ النساء: ١٢٤
{N'omuntu akola emirimu emirongoofu, omusajja oba omukazi nga naye mukkiriza….}. N'assaako akakwakkulizo k'okuba nti mukkiriza. Ate n'agamba ku atali mukkiriza nti:
ﭧ ﭨ ﭽ ﱢ ﱣ ﱤ ﱥ ﱦ ﱧ ﱨ ﱩ ﱪ ﱫ ﭼ الفرقان: ٢٣
{Olwo ne tukyukira eri ebyo bye baakola mu mirimu (emirungi) ne tugifuula (nga) enfuufu efuumuddwa (n'ebuna wonna mu bbanga)}.
Era Allah n'agamba:
ﭧ ﭨ ﭽ ﱶ ﱷ ﱸ ﱹ ﱺ ﱻ ﱼ ﱽﱾ ﱿ ﲀ ﲁ ﲂ ﲃ ﲄ ﲅ ﲆ ﲇ ﭼ هود: ١٦
{Abo be bo abatalina (mugabo) mu nkomerero wabula omuliro. Byayonooneka ebyo bye baakola mu yo (ensi) era byonoonefu ebyo byonna bye baalinga bakola (ku nsi)}.
Qur'aan eyetiibwa yannyonnyo bulungi nti okulamuzisa amateeka agatali ga Allah (mu kwesalira wo), buba bukaafiiri bwankukunala (obweyolefu) era kuba kugatta Allah na kintu kirala (shirik), Sitaane bweyajja eri abakaafiiri be Makka yabagamba b'abuuze Nabbi (s.a.w) nti singa embuzi bukeesa enkya nga efudde ani aba agisse? Nabbi n'abagamba nti “Allah y'aba agisse" sitaane n'eddamu n'ebagamba nti: “Mmwe kye musaze n'emikono gyammwe kiri halal (kikkirizibwa okuliibwa) ate kyo Allah kyasaze n'omukono gwe ogwekitiibwa (ekifudde kyokka) kiri haraam (kyo tekikkirizibwa kuliibwa)? Kitegeeza nti mmwe musinga Allah. Allah kwe kussa etteeka lino n'agamba nti:
ﭧ ﭨ ﭽ ﱻ ﱼ ﱽ ﱾ ﱿ ﲀﲁ ﲂ ﲃ ﲄ ﲅ ﲆ ﭼ الأنعام: ١٢١
{Era mazima ba sitaane baweereza (bakubiriza) eri abantu baabwe balyoke babakaayanye (mu bitaliimu) bwe munaaba nga mubagondedde, mazima mmwe mujja kubeera mw'abo abagatta ku Allah ebintu ebirala (Abashiriku)}. Era okuba nti ennukuta ya “F" “ ف" teyateekebwa kukigambo ekigamba nti:
ﲄ ﲅ ﲆ ﭼ
(mazima mmwe mujja kubeera mw'abo abagatta ku Allah ebintu ebirala). Kabonerero akeeyolefu akalaga nti ennukuta ya “ Laamu" "ل" (nga yesooka) kukigambo kino
ﲅ ﲆ ﭼ
{ mujja kubeera mw'abo abagatta ku Allah ebintu ebirala)}. Allah yali agendereramu kulayira (kubanga ennukuta eyo eya “Laamu" "ل" y'emu kwezo ezikozesebwa mukulayira, nga n'amakulu g'okulayira wanno kuba kuggumiza nsonga eno). Ne kiba nti Allah owekitiibwa yalayira mu a'ya eno nti mazima ddala oyo yenna agondera sitaane mu kulamula kwe okw'okufuula ennyama nfu nti ekkirizibwa okuliibwa, aba agasse ku Allah n'ekintu ekirala (aba mushiriku) era nga oyo shirik omutene ajja omuntu mu busiraamu okusinziira ku kwegatta kw'abasiraamu bonna. Era nga Allah ajja kubonereza oyo yenna eyebagala ezambi eryo kulunaku lw'enkomerero. Allah y'agamba:
ﭧ ﭨ ﭽ ﱣ ﱤ ﱥ ﱦ ﱧ ﱨ ﱩ ﱪ ﱫ ﱬﱭ ﱮ ﱯ ﱰ ﱱ ﱲ ﱳ ﱴﱵ ﱶ ﱷ ﱸ ﱹ ﭼ يس: ٦٠ - ٦١
{Saalagaana nammwe (ne mbakuutira) Abange mmwe batabani ba Adamu (Abaana b'omuntu) nti temusinzanga sitaane mazima ye mulabe wammwe omweyolefu ** (Ne mbagamba nti): Musinze nze (Katonda wammwe) era eryo ly'e kubo eggolokofu}.
Era Allah n'atunyumiza Nabbi Ibrahiim (a.s.w) bweyagamba kitaawe nti:
ﭧ ﭨ ﭽ ﱿ ﲀ ﲁ ﲂﲃ ﲉ ﭼ مريم: ٤٤
{Owange kitange! Tosinzanga sitaane} Amakulu muku mugoberera mu kulamula kwe okwekikaafiiri n'amateekage ge yeeteerawo ne mubugyemu. Allah y'agamba:
ﭧ ﭨ ﭽ ﲊ ﲋ ﲌ ﲍ ﲎ ﲏ ﲐ ﲑ ﲒ ﲓ ﲔ ﲕ ﭼ النساء: ١١٧
{Tebasaba (tebasinza) ebyo ebitali ye Allah (wabula ebyo bye baatuuma amannya) ag'ekikazi era tebasaba wabula sitaane oyo eye waggula}. Amakulu nti tebasinza okujjako sitaane nga bagoberera okulamula kwe.
Era Allah y'agamba:
ﭧ ﭨ ﭽ ﲬ ﲭ ﲮ ﲯ ﲰ ﲱ ﲲ ﲳ ﳂ ﭼ الأنعام: ١٣٧
{Bwe kityo kyalungiyizibwa eri abasinga obungi mu bagatta Katonda n'ebintu ebirala eky'okutta abaana baabwe (olw'okubanga) bannaabwe (basitaane) baabalagiranga okuziika abaana baabwe nga balamu}.
Allah yabayita aba shiriku olwokubanga baagondera sitaane mukujemera Allah nga batta abaana baabwe.
Era Swahaaba ayitibwa Adiyyi Bun Haatimu bweyabuuza Nabbi (s.a.w) ku A'ya egamba nti:
ﭧ ﭨ ﭽ ﲧ ﲨ ﲩ ﲪ ﳀ ﭼ التوبة: ٣١
{Baafuula Bakabona baabwe n'Abasosodooti baabwe okuba bakatonda atali Allah (oyo Katonda ali omu omutonzi)}. Kubutya bwe baabafuula bakatonda?
Nabbi (s.a.w) y'amwanukula nti: “Amakulu agali mukubafuula ba Katonda baabwe kwe ku bagoberera kwabwe mu kukkiriza ebyo ate Allah byeyaziyiza oba okuziyiza ebyo Allah bye yakkiriza" era nga ensonga eyo teriimu kwawukana kwonna. Allah y'agamba:
ﭧ ﭨ ﭽ ﱁ ﱂ ﱃ ﱄ ﱅ ﱆ ﱇ ﱈ ﱉ ﱊ ﱋ ﱌ ﱍ ﱎ ﱏ ﱐ ﱑ ﱒ ﱓ ﱔ ﱕ ﱖ ﱗ ﱘﱙ ﱚ ﱛ ﱜ ﱝ ﱞ ﱟ ﱠ ﭼ النساء: ٦٠
{Tolaba abo abagamba (nga balimba) nti: Mazima bo bakkiriza ebyo ebyassibwa gy'oli n'ebyo ebyassibwa oluberyeberye lwo, ate nga baagala okulamulwa basitaane nga mazima baalagirwa okugiwakanya? Sitaane ky'ayagala kwe kubabuza olubula olw'ewala}.
Era Allah n'anamba:
ﭧ ﭨ ﭽ ﲔ ﲕ ﲖ ﲗ ﲘ ﲙ ﲚ ﲛ ﲜ ﲝ ﭼ المائدة: ٤٤
{N'omuntu atalamula n'ebyo Allah bye yassa nabo bebawakanyi (abatakkiriza) abamenyi b'amateeka}.
Era Allah n'agamba nti:
ﭧ ﭨ ﭽ ﲀ ﲁ ﲂ ﲃ ﲄ ﲅ ﲆ ﲇ ﲈ ﲉﲊ ﲋ ﲌ ﲍ ﲎ ﲏ ﲐ ﲑ ﲒ ﲓﲔ ﲕ ﲖ ﲗ ﲘ ﲙ ﭼ الأنعام: ١١٤
{Atali Allah gwe mba noonya okuba omulamuzi nga naye y'oyo ayassa gye muli ekitabo (kino) ekinnyonnyola? N'abo be twaleetera ekitabo oluberyeberye bamanyi nti mazima kyo kyassibwa okuva eri Allah wo n'amazima. Kale tobeereranga ddala (Gwe Muhammad) ow'omubabuusabuusa}.
Era Allah n'agamba:
ﭧ ﭨ ﭽ ﲚ ﲛ ﲜ ﲝ ﲞﲟ ﲠ ﲡ ﲢﲣ ﲤ ﲥ ﲦ ﲧ ﭼ الأنعام: ١١٥
{Kyajjula ekigambo kya mukama wo nga mazima na bwenkanya. Tewali wa kukyusa bigambo bye. Naye Muwulizi Omumanyi}. Amazima ge gali mubigambo bye, Ate obwenkanya buli mu mateeka ge. Kyova olaba y'agamba nti:
ﭧ ﭨ ﭽ ﳍ ﳎ ﳏﳐ ﳑ ﳒ ﳓ ﳔ ﳕ ﳖ ﳗ ﳘ ﭼ المائدة: ٥٠
{Abaffe okulamula kw'obutamanya (okw'edda) kwe baagala? Naye ani asinga Allah okulamula okulungi eri ekibiina ekitegeera (obukakafu)?}.
Obusiraamu bw'annyonnyola mu Qur'aan eyekitiibwa engeri y'okuwangalamu n'okweyisa eri abantu abalala, kyova olaba nti Allah yagamba Omubaka (s.a.w) bw'abanga ali n'abantu nti:
ﭧ ﭨ ﭽ ﱳ ﱴ ﱵ ﱶ ﱷ ﱸ ﱹ ﭼ الشعراء: ٢١٥
{Okkakkanye ekiwawaatiro kyo (mu kusaasira) kw'oyo aba okugoberedde mu bakkiriza}.
Era Allah n'agamba:
ﭧ ﭨ ﭽ ﱉ ﱊ ﱋ ﱌ ﱍ ﱎﱏ ﱐ ﱑ ﱒ ﱓ ﱔ ﱕ ﱖ ﱗﱘ ﱙ ﱚ ﱛ ﱜ ﱝ ﱞ ﱟﱠ ﱫ ﭼ آل عمران: ١٥٩
{Ne ku lw'okusaasira okwava eri Allah wabagondera (Gwe Muhammad) naye singa wali ow'ebboggo omukakanyavu w'omutima (n'empisa embi) bandikuluumulukuse okuva mmu mabbali go (bandikudduseeko bonna) kale basonyiwe obeegayiririre Allah abasonyiwe era obeebuuzengako mu kigamba (mu nsonga)}.
Era tunuurira butya Allah bweyalagira omuntu okweyisa nga ali wamu n'abantu be (Abaana be oba mukyala we) bwe y'agamba nti:
ﭧ ﭨ ﭽ ﲪ ﲫ ﲬ ﲭ ﲮ ﲯ ﲰ ﲱ ﲲ ﲳ ﲴ ﲵ ﲶ ﲷ ﲸ ﲹ ﲺ ﲻ ﲼ ﲽ ﲾ ﲿ ﳀ ﭼ التحريم: ٦
{Abange mmwe Abakkiriza Mukingirize emwoyoyo gyammwe n'abantu bammwe omuliro (ogwo) ogukumirwa ku bantu n'amayinja oguliko bamalaika (abagukuuma) abazito (abakambwe) abamaanyi amayitirivu, abatajeemera Allah mw'ekyo ky'abalagira wabula ne bakola ekyo (kyennyini) ekibalagiddwa}.
Ate era Allah y'atulaga akabi akayinza okuva eri abantu baffe (Nga Abaana n'abakyala) natulagira okubeerinda bweyagamba nti:
ﭧ ﭨ ﭽ ﱹ ﱺ ﱻ ﱼ ﱽ ﱾ ﱿ ﲀ ﲁ ﲂﲃ ﲄ ﲅ ﲆ ﲇ ﲈ ﲉ ﲊ ﲋ ﲌ ﭼ التغابن: ١٤
{Abange mmwe abakkiriza Mazima mu bamu mu bakyala bammwe n'abaana bammwe mulimu abalabe bammwe, n'olwekyo mubeerinde. Wabula bwe muba mubaddiddemu ne mulekara ne musonyiwa, olwo mazima Allah Musonyiyi, Musaasizi}
Era Allah y'alaga butya abantu bwebalina okweyisa eri bannaabwe n'agamba nti:
ﭧ ﭨ ﭽ ﱪ ﱫ ﱬ ﱭ ﱮ ﱯ ﱰ ﱱ ﱲ ﱳ ﱴ ﱵ ﱶ ﱷﱸ ﱹ ﱺ ﱻ ﱼ ﭼ النحل: ٩٠
{Mazima Allah alagira bwenkanya na kuyisa bulungi, n'okuwa ab'oluganda olw'okumpi (n'abantu abalala) n'agaana eby'obwenzi n'ebibi n'okulumbagana abantu, Ababulirila oba olyawo ne mujjukira}.
Era Allah n'agamba nti:
ﭧ ﭨ ﭽ ﱁ ﱂ ﱃ ﱄ ﱅ ﱆ ﱇ ﱈ ﱉ ﱊ ﱋﱌ ﱍ ﱎ ﱏ ﱐ ﱑ ﱒﱓ ﱤ ﭼ الحجرات: ١٢
{Abange mmwe Abakkiriza mwewale nnyo (nga bwe musobola okulowooza nga kubantu ba nnammwe) ebirowoozo ebiteebereza obuteebereza kubanga mazima ebirowoozo ebimu bivve (eri Katonda) Era temukettkettanga (ne mulingiriza bantu bannammwe mubitabakwatako) era abantu tebageyanga bannaabwe}.
Era n'agamba nti:
ﭧ ﭨ ﭽ ﲺ ﲻ ﲼ ﲽ ﲾ ﲿ ﳀ ﳁ ﳂ ﳃ ﳄ ﳅ ﳆ ﳇ ﳈ ﳉ ﳊ ﳋ ﳌﳍ ﳎ ﳏ ﳐ ﳑ ﳒ ﳓﳔ ﳕ ﳖ ﳗ ﳘ ﳙﳚ ﳛ ﳜ ﳝ ﳞ ﳟ ﳠ ﳡ ﭼ الحجرات: ١١
{Ekibiina (mu mmwe) tekikyoomanga ekibiina ekirala kyandiyinza okuba (kye banyoomerera) nga kye kirungi (ewali Allah) okusiinga bo, wadde n'abakyala tebanyoomanga bakyala bannaabwe (kubanga) bandibeera nga be balungi (eri Allah) okusinga bo, wadde temwevvoolagananga (temukiinagananga) mwekka na mwekka (abamu okuvvoola bannaabwe) era temuyitinngananga amannya amabi (ag'okuvumagana n'okujeregagana) Erinnya erisinga obubi okuyita omuntu ly'eryo erityooboola (obuntu bwe) oluvannyuma lw'okuba omukkiriza, N'omuntu ateenenya abo bo be balyazaamaanyi (abassa ebintu mubitali bifo byabyo)}.
Era n'agamba nti:
ﭧ ﭨ ﭽ ﲼ ﲽ ﲾ ﲿﳀ ﳁ ﳂ ﳃ ﳄ ﳅﳆ ﳎ المائدة: ٢
{Muyambaganenga mu bulungi n'okutya Allah naye temubeeragananga ku kwonoona n'obulabe}
Era n'agamba:
ﭧ ﭽ ﲫ ﲬ ﲭ ﲶ ﭼ الحجرات: ١٠
{Ddala mazima abakkiriza (bonna Abasiraamu) baluganda}.
Era n'agamba nti:
ﭧ ﭨ ﭽ ﲎ ﲏ ﲐ ﲔ ﭼ الشورى: ٣٨
{Nga n'ensonga zaabwe ziyita mu kuteesaganya wakati waabwe}. Ne a'yaat eziringa ezo nkumu.
Olwokuba nti okuwangalirira mu bantu teri muntu asobola kukyebeera kabaani kubanga buli muntu abesabeesebwa n'okubeerawo kw'omulala. N'obuzibu bwetufuna mubantu bannaffe Allah owekitiibwa yatulaga eddagala lyabwo eribuvumula mubifo byamirundi esatu: Okwewala okunyiiza bannaffe, n'okuyisinngana obulungi era nti ye sitaane n'amageege teri ddagala lyabyo ddala okujjako okwekingiriza n'okwewogoma eri Allah okuwona obubi bwabyo.
Ekifo ekisooka Allah y'agamba nti:
ﭧ ﭨ ﭽ ﱥ ﱦ ﱧ ﱨ ﱩ ﱪ ﱫ ﱬ ﭼ الأعراف: ١٩٩
{Weekuumire ku kusonyiwa (Gwe Muhammad) era olagire empisa ennungi wabula oyawukane ku batamanyi}.
Era n'agamba mu a'ya endala egifaanaako nti:
ﭧ ﭨ ﭽ ﱭ ﱮ ﱯ ﱰ ﱱ ﱲ ﱳﱴ ﱵ ﱶ ﱷ ﱸ ﭼ الأعراف: ٢٠٠
{Naye bwe kiba ekirabankanya nga kikulabankanyizza okuva eri sitaane, kale weekigirize ne Allah mazima ye awulira amanyi}.
Ekifo ekyokubiri y'agamba nti:
ﭧ ﭨ ﭽ ﱿ ﲀ ﲁ ﲂ ﲃﲄ ﲅ ﲆ ﲇ ﲈ ﲉ ﭼ المؤمنون: ٩٦
{Ggisaawo ekyo ekisinga obulungi ekibi (ekiba kikukoleddwa) ffe tumanyi ebyo byeboogera}.
Ne a'ya endala egifaanana:
ﭧ ﭨ ﭽ ﲊ ﲋ ﲌ ﲍ ﲎ ﲏ ﲐ ﲑ ﲒ ﲓ ﲔ ﲕ ﲖ ﲗ ﭼ المؤمنون: ٩٧ - ٩٨
{Era ogambe nti: Mukama wange nnekingiriza naawe mu kuseemya seemya kwa sitaane ** Era nnneekingiriza naawe Mukama wange (basitaane abo) baleme okunsemberera}.
Ekifo ekyokusatu mukyo Allah ya yongera okutulaga okuvumula okuva gyali era nti tekuweebwa buli omu wabula kuweebwa oyo yekka munnamukisa. Allah y'agamba:
ﭧ ﭨ ﭽ ﲀ ﲁ ﲂ ﲃ ﲄ ﲅ ﲆ ﲇ ﲈ ﲉ ﲊ ﲋ ﲌ ﲍ ﲎ ﲏ ﲐ ﲑ ﲒ ﲓ ﲔ ﲕ ﲖ ﲗ ﲘ ﭼ فصلت: ٣٤ - ٣٥
{Gyawo (ekibi) nga (okiggisaawo) ekyo ekikisinga obulungi olwo nno onoogenda okulaba nga oyo awabadde wakati wo naye obulabe nga alinga ow'oluganda, era ow'omukwano nfiirabulago ** Tayinza kukifuna (ekitendo ky'obulungi) ekyo wabula abo abalina okuguminkiriza, era wadde tayinza kukifuna ekyo wabula abo abalina omugabo omunene (awali Allah)}
Era n'agamba mu aya endala ezifaananako nti:
ﭧ ﭨ ﭽ ﲙ ﲚ ﲛ ﲜ ﲝ ﲞ ﲟﲠ ﲡ ﲢ ﲣ ﲤ ﲥ ﭼ فصلت: ٣٦
{Naye bwe kibanga kikulabankanyizza (Gwe) okuva eri sitaane ekirabankanya (kyonna, amangu ago) weekingirize ne Allah (ogambe nti: Audhu Billahi Minash-shaitwani Rajiim) mazima ye awulira amanyi}.
Era nannyonnyola mu a'yaat endala nti ekyo kyeyawulidde eri bakkiriza bokka awatali mukaafiiri n'omu. N'agamba nti:
ﭧ ﭨ ﭽ ﲓ ﲔ ﲕ ﲖ ﲗ ﲘ ﲙ ﲚ ﲛ ﲜ ﲝ ﲞ ﲲ ﭼ المائدة: ٥٤
{Allah ajja kuleetawo ekibiina (kyabantu mu kifo kye) b'ayagala era abamwagala abakkakkamu ku bakkiriza abeegulumiza ku batakkiriza}.
Era Allah n'agamba:
ﭧ ﭨ ﭽ ﱁ ﱂ ﱃﱄ ﱅ ﱆ ﱇ ﱈ ﱉ ﱊ ﱋﱌ ﱽ ﭼ الفتح: ٢٩
{Muhammadi mubaka wa Allah, n'abo abali naye ba maanyi (abavumu ddala) ku batakkiriza (kyokka nga) basaasiragana (n'okulumirwagana) wakati waabwe}
Era Allah n'agamba:
ﭧ ﭨ ﭽ ﱁ ﱂ ﱃ ﱄ ﱅ ﱆ ﱇﱈ ﱉ ﱊﱋ ﱌ ﱍ ﱎ ﭼ التوبة: ٧٣
{Owange gwe Nabbi lwanyisa nnyo abakaafiiri n'abannanfuusi obazitoowereze n'obuddo bwabwe muliro (Jahannama) nagwo bwe buddo obusingayo obubi}.
Allah yannyonnyola mu Qur'aan eyekitiibwa ebikolo amatabi g'ebyobusuubuzi mu busiraamu kwe gesigamidde era nga biri ebikolo bibiri:
Ekisooka: Okwekenneenya n'okulongoosa amakubo agayingiza (mw'ojja) emmaali yo.
Ekyokubiri: Okwekenneenya n'okulongoosa amakubo mw'osasaanya emmaali yo.
Wetegereze olabe butya Allah bweyatuggulirawo amakubo agasaanidde okuyitamu okufuna emmaali mumbeera ennesiimbu. Allah y'ataaganza ku nsonga eyo n'atugamba nti:
ﭧ ﭨ ﭽ ﱘ ﱙ ﱚ ﱛ ﱜ ﱝ ﱞ ﱟ ﱠ ﱡ ﱢ ﱣ ﱤ ﱥ ﱦ ﱧ ﭼ الجمعة: ١٠
{Esswala bw'ebanga ewedde, kale olwo musaasaanire mu nsi munoonye mu bigabwa bya Allah, era mwogerenga nnyo ku Allah (nga mu mutendereza wonna we mubeera) oba olyawo ne mufuna okwesiima (ne mugobolola mu bye mukola)}.
Era n'agamba:
ﭧ ﭨ ﭽ ﱩ ﱪ ﱫ ﱬ ﱭ ﱮ ﱯ ﱰ ﲙ ﭼ المزمل: ٢٠
{N'abalala batambula mu nsi nga banoonya mu bigabwa bya Allah}.
Era n'agamba nti:
ﭧ ﭨ ﭽ ﱣ ﱤ ﱥ ﱦ ﱧ ﱨ ﱩ ﱪﱫ ﱿ ﭼ البقرة: ١٩٨
{Mmwe temulina kibi okunoonya eby'okufuna ebiva eri Mukama wammwe (okusuubula nga muli ku Hijja)}.
Era n'agamba:
ﭧ ﭨ ﭽ ﱡ ﱢ ﱣ ﱤ ﱥ ﱦ ﱧﱨ ﱲ ﭼ النساء: ٢٩
{Wabula okujjako nga kubadde kusuubulagana okuvudde mu kukkaanya wakati wammwe}.
Era n'agamba:
ﭧ ﭨ ﭽ ﱗ ﱘ ﱙ ﱳ ﭼ البقرة: ٢٧٥
{Sso nga Allah yakkiriza okusuubula}.
Era n'agamba:
ﭧ ﭨ ﭽ ﳌ ﳍ ﳎ ﳏ ﳐﳑ ﳙ ﭼ الأنفال: ٦٩
{Mulye mw'ebyo bye muba munyaze nga bitukuvu ebirungi}.
Ne A'yaat endala eziringa ezo nkumu.
Era tunuulira butya Allah bweyannyonnyola engeri gyetulina okuteeka eby'obusuubuzi mukusaasaanya ekyo kyetuba tulina (tufunye) N'agamba nti:
ﭧ ﭨ ﭽ ﱎ ﱏ ﱐ ﱑ ﱒ ﱓ ﱔ ﱕ ﱖ ﱗ ﱘ ﱙ ﱚ ﱛ ﭼ الإسراء: ٢٩
{Tofuulanga omukono gwo ogukoligiddwa mu nsingo yo (n'otagaba) era togwanjuluzanga olwanjuluza lwonna (n'ogaba ng'okuduubuuda) n'otuula nga onenyezebwa, asigaliddewo obusa}.
Era n'agamba nti:
ﭧ ﭨ ﭽ ﳇ ﳈ ﳉ ﳊ ﳋ ﳌ ﳍ ﳎ ﳏ ﳐ ﳑ ﳒ ﭼ الفرقان: ٦٧
{Era bebo bwe baba nga bawaddeyo, tebaduubuuda era tebakekkereza ne babeera wakati wa byombiriri mu makkati}.
Era n'agamba nti:
ﭧ ﭨ ﭽ ﯲ ﳂ ﳃ ﳄﳅ ﳆ ﳇﳈ ﳐ ﭼ البقرة: ٢١٩
{Era bakubuuza nti bagabe kigero ki? Bagambe
Nti: (Mugabenga) ekifisse (ku kwetaaga kwammwe)}.
Era tunuulira butya Allah bwe yatugaana okusaasaanya emmaali yaffe mwebyo byetutalina kugisaasaanya mu
ﭧ ﭨ ﭽ ﱱ ﱲ ﱳ ﱴ ﱵ ﱶ ﱷﱸ ﱾ ﭼ الأنفال: ٣٦
{Era bajja (kweyongera) okugiwaayo, oluvannyuma kubeere ku bo okwejjusa n'oluvannyuma basingwe}.
Obusiraamu bwannyonnyola emisingi nebikolo eby'obufuzi kwebirina okutengerera n'okutambulira, era nga obusiraamu butunuulira eby'obufuzi mungeri y'okukumaakuma n'okuteekateeka embeera z'abantu era nga zawulwaamu emirundi ebiri: Munda mugwanga, n'ebweru waalyo.
Ebweeru weggwanga: Ebweru we gwanga watambulira ku misingi ebiri:
Ogusooka: Okuteekateeka amaanyi agamala okwennganga n'okumalawo obulabe n'obulumbaganyi obuva eri abalabe baffe. Allah y'agamba:
ﭧ ﭨ ﭽ ﲥ ﲦ ﲧ ﲨ ﲩ ﲪ ﲫ ﲬ ﲭ ﲮ ﲯ ﲰ ﲱ ﲲ ﳇ ﭼ الأنفال: ٦٠
{Mubateekereteekere ekyo kye musobola mu maanyi ne mu kusiba embalaasi nga mutiisa nakyo omulabe wa Allah era omulabe wammwe}.
Ekyokubiri: Obumu obutuufu obubuna obuzimbiddwa ku maanyi ago. Allah y'agamba:
ﭧ ﭨ ﭽ ﱡ ﱢ ﱣ ﱤ ﱥ ﱦﱧ ﲅ ﭼ آل عمران: ١٠٣
{Mwenywereze ku mugwa gwa Allah (eddiine ye) mwenna temwawukananga}.
Era Allah n'agamba nti:
ﭧ ﭨ ﭽ ﱄ ﱅ ﱆ ﱇ ﱈﱉ ﱐ ﭼ الأنفال: ٤٦
{Temukayagananga ne mufootooka ne gagenda amaanyi gammwe}.
Era Qur'aan yataangaza bulungi ebigoberera kwekyo nga okussaawo endagaano ez'emirembe, n'okuzimenya bwekibanga kyetagisizza. Allah y'agamba:
ﭧ ﭨ ﭽ ﲋ ﲌ ﲍ ﲎ ﲏﲐ ﲕ ﭼ التوبة: ٤
{Mubajjulize endagaano yaabwe okutuusa okumalayo ebbanga lyabwe lyemwabalagaanya}.
Era n'agamba nti:
ﭧ ﭨ ﭽ ﲋ ﲌ ﲍ ﲎ ﲏ ﲐ ﲑ ﲒ ﲓﲔ ﲚ ﭼ الأنفال: ٥٨
{Mazima bw'obanga (Gwe Muhammad) nga otya mu kibiina okukumpanya (kye wakola nakyo endagaano) basuurire endagaano yabwe mu lwatu}.
Era n'agamba:
ﭧ ﭨ ﭽ ﱚ ﱛ ﱜ ﱝ ﱞ ﱟ ﱠ ﱡ ﱢ ﱣ ﱤ ﱥ ﱦ ﱧ ﱨ ﱩ ﱽ ﭼ التوبة: ٣
{Era okulangirira kuvudde eri Allah n'Omubaka we eri abantu ku lunaku lwa Hijja (Idd enkulu) nti mazima Allah ayawukanye n'abakaafiiri abagatta ku Allah n'ebintu ebirala (Abashiriku) era (bwatyo) n'omubaka we}.
Era n'atulagira okwekeka obubi n'ekwe zaabwe wamu n'okubeerindanga. N'agamba nti:
ﭧ ﭨ ﭽ ﲆ ﲇ ﲈ ﲉ ﲊ ﲐ ﭼ النساء: ٧١
{Abange mmwe abakkiriza mukwate eby'okwerinda byammwe}.
Era n'agamba nti:
ﭧ ﭨ ﭽ ﱚ ﱛ ﱜﱝ ﱞ ﱟ ﱠ ﱡ ﱢ ﱣ ﱤ ﲄ ﭼ النساء: ١٠٢
{Era bakwatenga eby'okwerinza byabwe n'eby'okulwanyisa byabwe, baagala abo abatakkiriza nti singa mugayaalirira eb'okulwanyisa byammwe}.
Ne A'yaat endala eziringa ezo nkumu.
Ate eby'obufuzi eby'omunda (mu ggwanga) birina okuzimbibwa ku musingi ogw'okusaasaanya obukuumi emirembe n'obutebenkevu mu ggwanga wonna, n'okulwanyisa obulyazamaanyi, wamu n'okutuukiriza ebivunaanyizibwa by'abantu. Era nga eby'obufuzi birina okwetooloolera ku kukuuma ebintu mukaaga nga obusiraamu bye bwajja okulwanirira n'okukuuma.
Ekisooka: Eddiini era nga amateeka g'obusiraamu gajja okugikuuma, ky'ova olabanga Nabbi (s.a.w) y'agamba:
" من بدل دينه فاقتلوه" أخرجه البخاري من حديث ابن عباس كتاب الجهاد باب لا يعذب بعذاب الله 4\21
“ Oyo yenna akyusa eddiini ye (n'ava mubusiraamu) mu mutte nga". Omwonno mulimu okutiisa n'okulabua okwekika ekyawaggulu eri omuntu yenna ava mu busiraamu n'oyo agezaako okubujoloonga
Ekyokubiri: Emyoyo (obulamu) bw'abantu. Allah owekitiibwa yatulagira mu Qur'aan okufaayo ennyo okukuuma obulamu bw'abantu ky'ova olaba nti y'assaawo okuwoolera eggwanga okusobola okubukuuma. Allah y'agamba:
ﭧ ﭨ ﭽ ﲣ ﲤ ﲥ ﲦ ﲫ ﭼ البقرة: ١٧٩
{Era mulina mmwe mu tteeka ly'okuwoolera eggwanga obulamu}
ﭧ ﭨ ﭽ ﱼ ﱽ ﱾ ﱿ ﲀﲁ ﲢ ﭼ البقرة: ١٧٨
{Kwalaalikwa ku mmwe okuwoolera eggwanga mu kutta omuntu}.
ﭧ ﭨ ﭽ ﲍ ﲎ ﲏ ﲐ ﲑ ﲒ ﲓ ﲜ ﭼ الإسراء: ٣٣
{N'oyo aba attiddwa mu kulangibwa obwemage, ddala twateerawo nnannyini ye (omusika we) obuyinza (obw'okuvunaana oyo amusse)}.
Ekyokusatu: Amagezi, Obusiraamu bwajja okukuuma amagezi (g'abantu) era y'ensonga lwaki bwawera ebitamiiza byonna (nga omwenge enjaga n'ebirala) abantu basobole okusigala nga batgeera bulungi obudde bwonna. Allah y'agamba:
ﭧ ﭨ ﭽ ﲾ ﲿ ﳀ ﳁ ﳂ ﳃ ﳄ ﳅ ﳆ ﳇ ﳈ ﳉ ﳊ ﳋ ﳌ ﳍ ﭼ المائدة: ٩٠
{Abange mmwe abakkiriza mazima omwenge ne zzaala, n'amasanamu (ebifaananyi) n'obusaale (obulagula n'ebirala ng'ebyo) byenyinyalwa bya mu mirimu gya sitaane, mubyewale oba olyawo mu neesiima}.
Nabbi (s.a.w) y'atugamba mu Hadiith nti:
"كل مسكر حرام, ما أسكر كثيره فقليله حرام " أخرجه بهذا اللفظ ابن ماجة كتاب الأشربة باب ما أسكر كثيره فقليله حرام 2\1124 رقم الحديث 3392
“Buli kyonna ekitamiiza tekkirizibwa (kiri haraam) na buli ekitamiiza mu bungi (bwakyo) mu butono bwakyo tekikkirizibwa".
Era olw'okwagala okukuuma amagezi n'obwongo bw'abantu obusiramu bw'assaawo ekibonerezo eri omunywi w'omwenge.
Ekyokuna: Endyo obusiraamu olw'okwagala oku kuuma endyo z'abantu bwagaana obwenzi era ne bussaawo ekibonerezo ekikakali eri omwenzi (omukazi n'omusajja). Allah y'agamba:
ﭧ ﭨ ﭽ ﱋ ﱌ ﱍ ﱎ ﱏ ﱐ ﱑ ﱒﱓ ﱧ ﭼ النور: ٢
{Omwenzi omukazi n'omwenzi omusajja mumukube buli omu ku bombiriri emiggo kikumi (100)}
Ekyokutaano: Ebitiibwa, obusiraamu olw'okwagala okukuuma ebitiibwa by'abantu bwalaalika ekibonerezo kya kukubwa emboko kinaana (80) eri omuntu atemerera munne. Allah y'agamba:
ﭧ ﭨ ﭽ ﱼ ﱽ ﱾ ﱿ ﲀ ﲁ ﲂ ﲃ ﲄ ﲅ ﲆ ﲐ ﭼ النور: ٤
{N'abo abawaayiriza (abatemerera) obwenzi abakyala ab'ensa oluvannyuma ne nebataleeta bajulizi bana mubakubenga emiggo kinaana (80)}.
Ekyomukaaga: Emmaali, Obusiraamu olw'okwagala okukuuma emmaali y'abantu, bwalaalika ekibonerezo eri omubbi nga kya kuteemwaako mukono. Allah y'agamba:
ﭧ ﭨ ﭽ ﱏ ﱐ ﱑ ﱒ ﱓ ﱔ ﱕ ﱖ ﱗ ﱘﱙ ﱝ ﭼ المائدة: ٣٨
{N'omubbi omusajja n'omubbi omukazi, mutemengako emikono gya bombiriri, nga y'empeera y'ekyo kye bakoze nga kibonerezo eky'okulabirako eky'ava eri Allah}.
Nekiba nga kyeyoleka bulungi nti mukugoberera Qur'aan n'okugiteeka munkola ddagala erisobola okugonjoola ebizibu by'abantu, n'okufuna obulungi munda muggwanga n'ebweru waalyo.
Ekizibu ekyo ba swahaaba ba Nabbi (s.a.w) ky'abatuukako era nekibayitirirako nga ne Nabbi ekyaliwo mulamu. Naye Allah nayisa fatuwa okuva muggulu eyajjawo obuzibu obwo, nabwekityo abasiraamu bwe baamala okutuukibwako ebyabatuukako mu lutalo lwe Uhudi baagenda eri Nabbi (s.a.w) ne bemulugunya gyali nti: Butya abakaafiiri bwe bayinza okutulinnyako neba tufufuggaza bwebatyo ate nga ffe tuli ku mazima nga bbo be bali kubukyamu! Allah kwekubaanukula n'abagamba nti:
ﭧ ﭨ ﭽ ﳌ ﳍ ﳎ ﳏ ﳐ ﳑ ﳒ ﳓ ﳔﳕ ﳖ ﳗ ﳘ ﳙ ﳚﳛ ﳢ ﭼ آل عمران: ١٦٥
{(Lwaki mwewuunya) bwe kaamala okubatuukako akabenje sso nga nammwe mazima mwafunyisa (abalabe bammwe ku lutalo lw'e Badri) ekifaananyi ky'ekyo emirundi ebiri, ne mugamba nti: wa gye kivudde kino? Bagambe (Gwe Muhmmad) nti: Ekyo kivudde gye muli mmwe mwennyini}.
Ekigambo kye (Allah) ekigamba nti:
ﭧ ﭨ ﭽ ﳖ ﳗ ﳘ ﳙ ﳚﳛ ﳢ ﭼ آل عمران: ١٦٥
{ Bagambe (Gwe Muhammad) nti: Ekyo kivudde gye muli mmwe mwennyini}. Yakinnyonnyola mukukikkatiriza n'ekigambo kye ekigamba nti:
ﭧ ﭨ ﭽ ﱬ ﱭ ﱮ ﱯ ﱰ ﱱ ﱲﱳ ﱴ ﱵ ﱶ ﱷ ﱸ ﱹ ﱺ ﱻ ﱼ ﱽ ﱾ ﱿ ﲀﲁ ﲂ ﲃ ﲄ ﲅ ﲆ ﲇ ﲈ ﲉﲊ ﲋ ﲌ ﲍ ﲎﲏ ﲙ ﭼ آل عمران: ١٥٢
{Mazima Allah yakakasa okutuukiriza kw'endagaano ye (ey'okubataasa mmwe abakkiriza) mu (ntandikwa y'olutalo) mu kiseera bwe mwali nga mubatirimbula ku lw'okukkiriza kwe, okutuusa (ekiseera) lwe mwafootookerera ne mukaayana mu kigambo (ebiragiro) ne mujeema, oluvannyuma lw'okubanga ekyo kye mwagala (eminyago n'obuwanguzi bwe mwali mufunye). Mulimu mu mmwe oyo ayagala ensi era mulimu mu mmwe oyo ayagala enkomerero. Bweyamala (Allah) n'abakyusa mmwe ku bo alyoke abagezese}.
Allah n'annyonnyola mu a'ya eyo nti ensonga eyavaako okubafufuggaza yava kubo bennyini era nga kwe kufootooka kwabwe n'okukaayana kwabwe mubiragiro n'okujeemera abamu kubo Omubaka (s.a.w) n'abamu kubo okwagala ensi. Bwekityo kubanga abakanyuzi b'obusaale n'amafumu Nabbi beyalagira okukuuma kuntikko y'olusozi basobole okutangira abakaafiiri okuzinda abasiraamu nga babava emabega waabwe, baaluluunkanira eminyago oluvannyuma lw'okuwangula abashiriku kuntandikwa y'olutalo, bwebatyo ne baleka ekiragiro kya Nabbi (s.a.w) (kyeyali abagambye nti temuvaawo wano ssi nsonga tuwangudde oba batuwangudde) olw'ogwagala nabo okwefunira ku minyago egyali gikunnganyizibwa.
Allah yataangaaza eddagala erivimula ekizibu kino nayyonnyola nti: singa alaba mu mitima gy'abaddu be Ikhilaas (okulafuubana kulwa Allah) nga bwekyetaagisa empeera gy'abasasulamu kwekubataasa nga abawanguza abo abaamanyi kubo, na bwekityo Allah bweyalaba Ikhilaas mu mitima gy'abaddu abakkiriza Abawerera Nabbi (s.a.w) obweyamu okubeera awamu naye (Bai at Ridhuwaa) nga bwe kyali kyetagisa yasiima kubo nga bwagamba nti:
ﭧ ﭨ ﭽ ﱾ ﱿ ﲀ ﲁ ﲂ ﲃ ﲄ ﲅ ﲆ ﲇ ﲈ ﲉ ﲊ ﲋ ﲒ ﭼ الفتح: ١٨
{Ddala Allah yasiima abakkiriza mu kiseera bwe baakuwerera obweyamu bw'okunywerera awamu naawe (nga muli) wansi w'omuti ( e Hudayibiiyya) n'amanya ebyo ebyali mu mitima gyabwe}.
Allah y'annyonnyola nti ebimu ku bibala bya Ikhilaas (Okkola ku lwa Allah) kwe kuba nti abawa obusobozi okuwangula n'okufuna ebyo bye batandisobodde. Era kyava agamba nti:
ﭧ ﭨ ﭽ ﲯ ﲰ ﲱ ﲲ ﲳ ﲴ ﲵ ﲶﲷ ﲸ ﲹ ﲺ ﲻ ﲼ ﲽ ﲾ ﭼ الفتح: ٢١
{(N'eminyago) emirila gye mutannasobola kufuna naye nga mazima (ye) Allah ya gyetooloola. Ddala Allah yali muyinza ku buli kintu okuva ddi na ddi}.
Allah nayatula nti baali tebasobola kugifuna era nti yali agyetooloodde n'agibasobozesa nagibafuulira nga minyago gyaabwe olwa Ikhilaas gyeyabalabamu; Na bwekityo bweyawanguzisa abasiraamu ku bakaafiiri mu lutalo lwa Ahzaabu songa abakaafiiri baalina egye ddene nnyo eryo gerwako mu A'ya eno nti:
ﭧ ﭨ ﭽ ﱵ ﱶ ﱷ ﱸ ﱹ ﱺ ﱻ ﱼ ﱽ ﱾ ﱿ ﲀ ﲁ ﲂ ﲃ ﲄ ﲅ ﲆ ﲇ ﲈ ﲉ ﲊ ﲋ ﲌ ﭼ الأحزاب: ١٠ - ١١
{Mu kiseera awo (amagye g'abazinzi) bwe gaabajjira nga bayita waggulu wammwe ne wansi wammwe ne mukiseera amaaso bwe gaalalambala (ne mutunula enkaliriza) n'emitima ne gituuka mu malookooli, ne mulowooza ku Allah ebirowoozo ebitali bimu** Mukiseera ekyo baagezesebwa abakkiriza (olugezesa olw'amaanyi) era ne bakankanyizibwa olukankana oluyitirivu}
Eddagala lyokka eryavumula obunafu bwabwe nga bazindiddwa eggye ery'amaanyi ennyo Kulongoosa mitima gyabwe nebakola kulwa Allah (Ikhilaas) n'okukkiriza okwamaanyi muye. Allah y'agamba:
ﭧ ﭨ ﭽ ﳐ ﳑ ﳒ ﳓ ﳔ ﳕ ﳖ ﳗ ﳘ ﳙ ﳚ ﳛ ﳜﳝ ﳞ ﳟ ﳠ ﳡ ﳢ ﳣ ﭼ الأحزاب: ٢٢
{Abakkiriza bwebaalaba ebibiinja by'amagye ebyegatta, ne bagamba nti: Kino Allah n'omubaka we kye baatulagaanyisa. Era ddala Allah n'omubaka we baayogera mazima. Era kyo (abakkiriza) tekyabongera wabula kukkiriza na kwewaayo (kugoberera kiragiro kya Allah)}.
Nekiba nti ebibala ebyaava mu kwewaayo okwo n'okukola ku lwa Allah, byebyo Allah byeyayogerako nti:
ﭧ ﭨ ﭽ ﱨ ﱩ ﱪ ﱫ ﱬ ﱭ ﱮ ﱯﱰ ﱱ ﱲ ﱳ ﱴﱵ ﱶ ﱷ ﱸ ﱹ ﱺ ﱻ ﱼ ﱽ ﱾ ﱿ ﲀ ﲁ ﲂ ﲃ ﲄ ﲅ ﲆ ﲇ ﲈ ﲉ ﲊ ﲋ ﲌ ﲍ ﲎ ﲏ ﲐ ﲑ ﲒﲓ ﲔ ﲕ ﲖ ﲗ ﲘ ﲙ ﲚ ﭼ الأحزاب: ٢٥ - ٢٧
{Allah yazzaayo abo abatakkiriza awamu n'obusungu bwabwe nga tebafunye kalungi konna. Allah n'amalira abakkiriza okulwana. Ne Allah yali okuva ddi ow'amaanyi, owe'kitiibwa (atalemwa kyonna) ** Allah n'assa abo abaabayamba (abalabe) mu bannanyini Kitabo (nga abagya) mu bigo byabwe, n'akasuka mu mitima gyabwe okutya n'okujugumira. Ekibiina mu bo mwabatta ate abalala ne mubawamba ** (Bwatyo Allah) n'abasikiza mmwe ettaka lyabwe n'amayumba gaabwe, n'ensi endala gye mutannalinnyamu kigere. Era yali Allah okuva ddi nga muyinza ku buli kintu}.
Era nga ekyo Allah kyeyabataasa nakyo baali tebakisuubira nga ze zimalaika n'empewo. Allah y'agamba:
ﭧ ﭨ ﭽ ﱞ ﱟ ﱠ ﱡ ﱢ ﱣ ﱤ ﱥ ﱦ ﱧ ﱨ ﱩ ﱪ ﱫ ﱬ ﱭﱮ ﱯ ﱰ ﱱ ﱲ ﱳ ﱴ ﭼ الأحزاب: ٩
{Abange mmwe Abakkiriza mujjukire ekyengera kya Allah kyeyabagabira mu kiseera eggye (ly'ebibinja ebyekobaanyi) bwe lyabajjira libasaanyeewo, ne tulyoka tubasindikira abo kikunnguuta (ow'obutiti) n'eggye (lya bamalaika) lye mutaalaba. Ne Allah olubeerera Alaba ebyo bye mukola}.
N'olwensonga eyo obwo bwaali bujulizi obulaga obutuufu bw'eddiini y'obusiraamu okuba nti ekibiinja ekitono ennyo kiwangula ogubinja gwa bakaafiiri ogunene ogwamaanyi. Allah y'agamba:
ﭧ ﭨ ﭽ ﱴ ﱵ ﱶ ﱷ ﱸ ﱹ ﱺ ﱻ ﱼﱽ ﱾ ﱿ ﲀ ﲁ ﭼ البقرة: ٢٤٩
{Bimeka ebibiina eby'abatono ebyawangula ebibiina eby'abangi ku lw'obuyinza bwa Allah! Ne Allah ali wamu n'abaguminkiriza}.
Era y'ensonga lwaki Allah yatuuma Olunaku olwaliko olutalo lwe Badri nti Kabonero, Bunnyonnyofu, lunaku lwa kwawula; Kubanga ebyaaliwo byaalaga obutuufu bw'eddiini y'obusiraamu. Allah y'agamba:
ﭧ ﭨ ﭽ ﱯ ﱰ ﱱ ﱲ ﱳ ﱴ ﱵﱶ ﱷ ﱸ ﱹ ﱺ ﱻ ﱼ ﱽ ﲏ ﭼ آل عمران: ١٣
{Mazima ku bibinja ebibiri ebyo ebyasisinkana (mu kulwanagana ku lutalo lw'e Badri) mwalimu eky'okulabirako: Ekibiina ekimu (ekyabakkiriza) nga kilwana mu kkubo lya Allah, nga n'ekirala ky'abatakkiriza}. Era nga olwo lwe lunaku lwe Badri. Era n'agamba:
ﭧ ﭨ ﭽ ﱑ ﱒ ﱓ ﱔ ﱕ ﱖ ﱗ ﱘ ﱙ ﱚ ﱤ ﭼ الأنفال: ٤١
{Bwemubanga mukkiriza Allah n'ebyo ebyassibwa ku muddu waffe (Muhammad s.a.w) ku lunaku lw'okwawula}. Era nga olwo lwe lunaku lwe Badri. Era Allah y'agamba:
ﭧ ﭨ ﭽ ﱻ ﱼ ﱽ ﱾ ﱿ ﲊ ﭼ الأنفال: ٤٢
{Alyoke azikirire oyo azikirira ng'ali kubunnyonnyofu}. Era nga olwo lwe lunaku lwe Badri okusinziira kukukasa kwabamanyi abamu. Era nga tewali kubuusabuusa nti okuwangula kwe kibiina ky'abakkiriza ekitono ekinafu eri ekibiina kyabakaafiiri ekinene bujulizi obulaga nti ekibiina ekyo kiri ku mazima era nti Allah yeyakitaasa nga bweyagamba kubyaaliwo e Badri nti:
ﭧ ﭨ ﭽ ﱏ ﱐ ﱑ ﱒ ﱓ ﱔﱕ ﱖ ﱗ ﱘ ﱙ ﱚ ﭼ آل عمران: ١٢٣
{Era ddala mazima Allah y'abataasa ku lutalo lw'e Badri nga muli batono nnyo abanyoomebwa. Kale mutye Allah oba olyawo ne mwebaza}.
Era n'agamba:
ﭧ ﭨ ﭽ ﱹ ﱺ ﱻ ﱼ ﱽ ﱾ ﱿ ﲀ ﲁ ﲂﲃ ﲄ ﲅ ﲆ ﲇ ﲈ ﲉ ﲑ ﭼ الأنفال: ١٢
{Era (mujjukire) mu kiseera bwe yatumira Mukama wo eri bamalaika (nga agamba) nti: Mazima Nze ndi wamu nammwe. Kale munyweze abo abakkiriza. Nja kuteeka mu mitima gy'abo abatakkiriza okutya}.
Abakkiriza be bo Allah be yalagaanyisa okutaasibwa era n'ayogera ebitendo byabwe n'enkizo yabwe eri abalala. N'agamba nti:
ﭧ ﭨ ﭽ ﱪ ﱫ ﱬ ﱭﱮ ﱯ ﱰ ﱱ ﱲ ﱳ ﭼ الحج: ٤٠
{Era ddala Allah ajja kutaasa oyo amutaasa (ataasa eddiini Ye) Mazima Allah wa maanyi ow'ekitiibwa}.
Oluvannyuma n'alaga enkizo yabwe mubiteendo byabwe n'agamba nti:
ﭧ ﭨ ﭽ ﱴ ﱵ ﱶ ﱷ ﱸ ﱹ ﱺ ﱻ ﱼ ﱽ ﱾ ﱿ ﲀ ﲁﲂ ﲃ ﲄ ﲅ ﲆ ﭼ الحج: ٤١
{Abo (be bo) bwe tuba nga tubatebenkezezza mu nsi, bayimirizaawo esswala ne batoola ne zakka ne balagira empisa ennungi ne bagaana empisa embi. Era ya Allah enkomerero y'ebigambo byonna}.
Okwekobaana okw'eggye kwebaali bakoze nga bwetwakirabwe gye buvuddeko waggulu era baali bakukoze ne ku by'obusuubuzi nga Allah bweyakirambika mu surat Al-munaafiquuna n'agamba nti:
ﭧ ﭨ ﭽ ﱤ ﱥ ﱦ ﱧ ﱨ ﱩ ﱪ ﱫ ﱬ ﱭ ﱮ ﱯﱰ ﱹ ﭼ المنافقون: ٧
{Bo bebo abagamba (abantu) nti: temuwa (emmaali n'obuyambi) ku lw'abo (abasenze- Bamuhaajiriin) abali awali omubaka wa Allah okutuusa lwe banagumbulukuka (nebava mukibuga kyaffe Madiina)}.
Ekyo abannanfuunsi kye baayagala okukola abakkiriza kwali kwagala kugotaanya byanfuna byaabwe naye Allah nalaga abakkiriza eddagala ly'okuvvuunuka ekizibu ekyo kunyweza bukkiriza bwabwe n'okuba abaamazima mukudda gyali, N'agamba nti:
ﭧ ﭨ ﭽ ﱱ ﱲ ﱳ ﱴ ﱵ ﱶ ﱷ ﱸ ﱹ ﭼ المنافقون: ٧
{Sso nga ga Allah amawanika g'eggulu n'ensi; naye bbo abannanfuusi tebategeera}.
Kubanga oyo alina amawanika g'eggulu n'ensi tasobola kulagajjalira oyo anoonya obubudamu gy'ali ate nga muwulize era mugoonvu gy'ali.
ﭧ ﭨ ﭽ ﲊ ﲋ ﲌ ﲍ ﲎ ﲏ ﲐ ﲑ ﲒ ﲓ ﲔ ﲕﲖ ﲗ ﲘ ﲙ ﲚ ﲛ ﲜﲝ ﲩ ﭼ الطلاق: ٢ - ٣
{N'omuntu yenna atya Allah, (Allah) amuteerawo obufulumiro (n'ava mu kunyigirizibwa kw'aba alimu kakube kwa kika ki) ** N'amugabira awo w'abadde tasuubira. N'omuntu eyesiga Allah naye amumala (mu byonna)}.
Era ekyo nakyo yakinnyonnyola nagamba nti:
ﭧ ﭨ ﭽ ﱝ ﱞ ﱟ ﱠ ﱡ ﱢ ﱣ ﱤ ﱥ ﱦﱧ ﱨ ﱩ ﱪ ﱫ ﱬ ﭼ التوبة: ٢٨
{Bwe muba nga mutidde obwavu Allah ajja kubagaggawaza mu birungi bye bw'anaaba ng'ayagadde.}
Allah owekitiibwa yannyonnyola mu surat Al hashiri nti ezimu ku nsonga eziviirako okwawukana kw'emitima buba butategeera n'agamba nti:
ﭧ ﭨ ﭽ ﲦ ﲧ ﲨ ﲩﲪ ﲫ ﲬ ﲭ ﲮ ﲯ ﲰ ﭼ الحشر: ١٤
{Obalowooza nti bali bumu so nga eminima gyabwe myawukamu. Ekyo kiri kityo lwakubanga mazima bo kibiina ekitategeera}
Eddagala ly'obunafu bw'okutegeera kumulisa bwongo nakugoberera kitangaala ky'obubaka (obussibwa okuva eri Allah) kubanga obubaka bulagirira eri emigaso obwongo bwegitasobola kulaba bwokka. Allah y'agamba:
ﭧ ﭨ ﭽ ﲇ ﲈ ﲉ ﲊ ﲋ ﲌ ﲍ ﲎ ﲏ ﲐ ﲑ ﲒ ﲓ ﲔ ﲕ ﲖ ﲗ ﮨ ﲠ ﭼ الأنعام: ١٢٢
{Oyo eyali nga mufu ne tumuzuukiza ne tumuteerawo ekitangaala ky'atambula nakyo mu bantu, ayinza okuba nga oyo ekifaananyi kye alinga ali mu bizikiza nga tali wa kubivaamu?}
N'annyonnyola mu a'ya eno nti ddala ekitangaala ky'obukkiriza kizuukiza oyo abadde omufu ne kimumulisiza ekkubo lyatambuliramu. Allah y'agamba:
ﭧ ﭨ ﭽ ﱁ ﱂ ﱃ ﱄ ﱅ ﱆ ﱇ ﱈ ﱉﱊ ﱜ ﭼ البقرة: ٢٥٧
{Allah Ye nnannyini kweyimirira nsonga z'abakkiriza era ye mudduukirize waabwe! Abaggya mu bizikiza n'abatwala mu kitangaala.}
Era n'agamba nti:
ﭧ ﭨ ﭽ ﲸ ﲹ ﲺ ﲻ ﲼ ﲽ ﲾ ﲿ ﳀ ﳁ ﳂ ﳃ ﳄ ﭼ الملك: ٢٢
{Abaffe, oyo atambula ng'akutaamiridde ku kyenyi kye (talaba gy'agenda) y'asinga obulunngamu okusinga oyo atambula nga yeegolodde nga ali ku kkubo eggolokofu?} Ne a'yaat endala eziringa ezo.
Okutwalira awamu enkola okwetooloolera obulungi bw'abantu eyimiriddewo ku bintu bisatu:
Ekisooka: Okuziyiza ebikyamu (okukugira obulabe) oba ekiyibwa mubamanyi ba Usuulu Al- Fiqh Eby'obuwaze nga bizingirwa mukuziyiza obubi n'okukugira obulabe ku bintu biri omukaaga byetwalabye waggulu (Eddiini, Obulamu, Amagezi, Olulyo, Ekitiibwa, ne Mmaali).
Ekyokubiri: Okutuusa ku bantu ebyetaago (emigaso) nga muno muzingiramu okugula n'okutunda, okupangisa, n'emigaso egyawamu egibuna abantu bomukitundu okusinziira kunjigiriza y'amateeka g'obusiraamu.
Ekyokusatu: Okweyisa mungeri ennungi, n'okutambulira kubulongoofu obumanyiddwa, oba ebirunjiya embeera z'obulamu, nga muno muzingiramu ebintu eby'obutonde nga okukuza ekirevu, okukendeeza ku masulubu n'ebirala era nga muzingiramu okweziyizaako ebyenyinyalwa, n'okwekakasaako okulabirira abenganda zo abeetaavu. Emigaso egyo gyonna tewali asinga kufaayo kulaba nti gikuumibwa (mu makubo amalungi amalamu) okusiinga eddiini y'obusiraamu. Allah y'agamba:
ﭧ ﭨ ﭽ ﭐﲄﲅ ﲆ ﲇ ﲈ ﲉ ﲊ ﲋ ﲌ ﲍ ﲎ ﲏ ﭼ هود: ١
{Alif Laam Raa (kino kye) kitabo (Qur'aan) byakakasibwa ebitundu byakyo oluvannyuma ne binnyonnyolwa obutuufu okuva awali omukakasa (Allah) omumanyi w'ebyama}
Nsaba Allah asse okusaasira kwe nemirembe eri omubaka Muhammadi (s.a.w) n'ekubennyumba ye neba swahaaba be nabuli muntu yenna alagirira empisa ennungi okutuusa Allah lwalizinga ko ensi eno.
-AMEEN-