Description
Ekitabo kino kyekimu kubitabo ebivvunule mu munkola empya eya islamhouse, era nga kivvunula ekitabo ekirina omutwe ogugamba nti “Ebyonona Obusiraamu” ekya Shk. Ibn Baazi, mu lulimi oluganda
turjumaad kale 38
Topics
العقيدة الصحيحة وما يضادها ونواقض الإسلام
Ennyanjula
بسم الله الرحمن الرحيم الحمد لله والصلاة والسلام على من لا نبي بعده، وعلى آله وأصحابه ومن اهتدى بهداه
أما بعد:
Ku lw'erinnya lya Allah, omusasizi ow'ekisa ekingi, Amatendo gonna (amalungi amajjuvu) ga Allah Okusaasira n'emirembe bibe eri Nabbi (s.w.a) oyo atalina luvannyuma we, n'abennyumba ye, ne baswahaaba be, nabuli yenna agoberera enjigiriza ye n'obuluggamu bwe, Oluvannyuma lwa byonna:
فاعلم أيها المسلم أن الله سبحانه أوجب على جميع العباد الدخول في الإسـلام والتمسك به والحـذر مما يخالفه، وبعث نبيه محمداً صلى الله عليه وسلم للدعوة إلى ذلك، وأخبر -عزّ وجلّ- أن من اتبعه فقد اهتدى، ومن أعرض عنه فقد ضل، وحذر في آيات كثيرات من أسباب الردة، وسائر أنواع الشرك والكفر، وذكر العلماء رحمهم الله في باب حكم المرتد، أن المسلم قد يرتد عن دينه بأنواع كثيرة من النواقض التي تحل دمه وماله، ويكن بها خارجاً عن الإسلام، ومن أخطرها وأكثرها وقوعاً عشرة نواقض ذكرها الشيخ محمد بن عبد الوهاب، وغيره من أهل العلم رحمهم الله جميعاً
Kimanye mugandawange Omusiraamu nti Mazima Allah yalaalika ku baddu be bonna okuyingira mu Busiraamu n'okubwekwatako n'okwewala ebyo byonna ebikontana nabwo. Era n'atuma n'Omubaka we Muhammad (s.a.w) akoowoole abantu ng'abazza eri ensonga eyo, Era - Allah owekitiibwa- n'ategeeza abaddu be nti agoberera Omubaka Muhammad ajja kuba alungamye n'amwawukanako ajja kuba abuze Era Allah, mu Ayaat nyingi, yeekesa abaddu be ensonga ezivaako okurutadda (okuva mu Busiraamu) era n'abeekesa n'ebika byonna ebya shirik n'obukaafiiri.
(Olw'obukulu bw'ensonga eyo,) abamanyi b'Obusiraamu – Allah abasaasire, bannyonnyola mu ssomo erikwata ku nnamula ya Murtadi (avudde mu Busiraamu) nti ensonga nnyingi ezisobola okuggya Omusiraamu mu Busiraamu n'afuuka omukaafiiri atazira musaayi gwe wadde emmaaliye. Ensonga ezisinga okuba ez'obulabe era ezisinga okugwibwamu mu nsonga eziggya omuntu mu Busiraamu ziri kkumi yazogera Sheikh Muhamammad bun Abdul wahaab, n'abamanyi abalala abatali bamu- Nsaba Allah abasaasire bonna wamu.
ونذكرها لك فيما يلي على سبيل الإيجاز، لتَحْذَرَها وتُحَذِّر منها غيرك، رجاء السلامة والعافية منها، مع توضيحات قليلة نذكرها بعدها:
Era nga zikuleeteddwa wammanga mubufunze, wamu n'okunnyonnyola kuzo okutono tono osobole okuzeewala era ez'ekese nazo abalala oba oli awo onowona obubi bwazo.
الأول: من النواقض العشرة : الشرك في عبادة الله تعالى
Mwebo ebintu ekkumi ebijja omuntu mu busiraamu: “Okugatta ku Allah owekitiibwa n'ekintu ekirala mukumusinza: Okugatta ku Allah owekitiibwa n'ekintu ekirala mukumusinza
ﭧ ﭨ ﭽ ﮄ ﮅ ﮆ ﮇ ﮈ ﮉ ﮊ ﮋ ﮌ ﮍ ﮎ ﮏ ﮐ ﮙ ﭼ النساء: ١١٦
Allah yagamba: { Mazima Allah tasonnyiwa kumugattako ekintu kyonna, kyokka asonnyiwa oyo gw'aba ayagadde ekibi ekitatuuka shirik eri oyo gwaliba ayagadde}
ﭧ ﭨ ﭽ ﭹ ﭺ ﭻ ﭼ ﭽ ﭾ ﭿ ﮀ ﮁ ﮂ ﮃ ﮄﮅ ﮆ ﮇ ﮈ ﮉ ﮊ ﭼ المائدة: ٧٢
Allah yagamba: {Mazima oyo yenna agatta ku Allah n'ekintu ekirala, Allah yaziyiza kuye okuyingira ejjana, era obuddiro bwabwe muliro era abalyazamaanyi tebalina mutaasa}
ومن ذلك دعاء الأموات، والاستغاثة بهم، والنذر والذبح لهم كمن يذبح للجن أو للقبر.
Nga mubyo mulimu okusaba abafu, n'okubakowoola, n'okubeetemera engalike, n'okubasalira, nga okusalira eggeege (ejjini) oba okusalira entaana.
الثاني: من جعل بينه وبين الله وسائط؛ يدعوهم، ويسألهم الشفاعة، ويتوكل عليهم، فقد كفر إجماعاً.
( mu nsonga eziggya omuntu mu Busiraamu) yemuddu okuteeka wakati we n'omutonzi we ebintu byayitiramu okutuuka gy'ali oba mbu okumutuusizaayo ensonga ze! Ebintu ebyo ng'abisaba ebyetaago, n'abisaba okumuwolereza eri Allah (intercession), n'abyesigamira. Tewali njawukana mu bamanyi b'Obusiraamu nti akola ekyo aba akaafuwadde
الثالث: من لم يُكَفِّر المشركين، أو شَكَّ في كفرهم، أو صحّح مذهبهم كفر.
Omuntu yenna atakaafuwaza bashiriku (abagatta ku Allah n'ebintu ebirala) oba n'abuusabuusa mu bukaafiiri bwabwe oba ng'akkiririza mu nkola yaabwe (nga okugamba nti eddiini makubo fenna tusinza Katonda omu era buli omu wali w'aba anywerera), naye aba mukaafiiri
الرابع: من اعتقد أن هدي غير النبي صلى الله عليه وسلم أكمل من هديه، أو أن حكم غيره أحسن من حكمه، كالذين يفضلون حكم الطواغيت على حكمه فهو كافر.
Omuntu yenna akkiriza nti waliyo obulungamu okusinga obulungamu bwe, oba ng'akkiriza nti waliwo ennamula etali nnamula ya Nabbi ng'esinga ennamula ye – Ng'abantu abasukkulumya ennamula za shaitwan (democracy) communism, socialism, baathism, capitalism, etc) ku nnamula ya Nabbi (s.a.w) (Shari'a) omuntu oyo aba mukaafiiri
الخامس: من أبغض شيئاً مما جاء به الرسول صلى الله عليه وسلم ولو عمل به فقد كفر،
Omuntu yenna asunguwalira oba n'atamwa ekintu kyonna Omubaka Muhammad kye yajja nakyo, ne bw'aba akikoleddeko akaafuwala.
ﭧ ﭨ ﭽ وَٱلَّذِينَ كَفَرُواْ فَتَعۡسٗا لَّهُمۡ وَأَضَلَّ أَعۡمَٰلَهُمۡ (8) ذَٰلِكَ بِأَنَّهُمۡ كَرِهُواْ مَآ أَنزَلَ ٱللَّهُ فَأَحۡبَطَ أَعۡمَٰلَهُمۡ ﭼ محمد: ٩
Allah yagamba: { Ekyo, lwa kuba nti Mazima ddala baatamwa ebyo Allah bye yassa, ne (Allah) n'asazaamu emirimu gyabwe}
السادس: من استهزأ بشيء من دين الرسول صلى الله عليه وسلم أو ثوابه، أو عقابه كفر،
Omuntu yenna ajeeja ekintu kyonna mu ddiiniya Allah I, ng'empeera y'abalongoosa oba ebibonerezo byaboonoonyi (n'ebintu ebirala; ng'ennyambala y'Obusiraamu, abasajja okukuza ebirevu, okwaziina), omuntu oyo akaafuwala.
والدليل قوله ﭨ ﭽ وَلَئِن سَأَلْتَهُمْ لَيَقُولُنَّ إِنَّمَا كُنَّا نَخُوضُ وَنَلْعَبُ ۚ قُلْ أَبِاللَّهِ وَآيَاتِهِ وَرَسُولِهِ كُنتُمْ تَسْتَهْزِئُونَ ﭼ التوبة:
N'obujulizi kwekyo kyekigambo kya Allah ekigamba nti: {Bagambe nti: Allah, n'ebigambo Bye, n'Omubaka We be mubadde mujeeja?! Temwewozaako! Mazima mukaafuwadde oluvannyuma lw'okuba nti mubadde Bakkir }
السابع: السحر، ومنه الصرف والعطف، فمن فعله أو رضي به كفر،
Eddogo. Erya sswarfu (sswarfu, ly'eddogo ly'okukyusa omuntu okumujja ku kintu ky'ayagala okukimutamisa – ng'okuloga omusajja okumukyayisa mukyalawe gwayagala n'amutama) N'erya 'Atwuf (Atwuf, ly'eddogo erikolebwa okukyusa omuntu okumwagazisa ekyo ekitamubadde ku mwoyo – ng'eddogo ly'obuganzi). Omuntu yenna akola eddogo, oba asiima likolebwe, akaafuwala.
والدليل قوله ﭧ ﭨ ﭩ ﭪ ﭫ ﭬ ﭭ ﭮ ﭯ ﭰ ﭱ ﭲ ﭳ ﭴﭵ ﮣ ﭼ البقرة: ١٠٢
N'obujulizi kwekyo kyekigambo kya Allah ekigamba nti: Tebaalisomesanga (eddogo) muntu yenna nga tebamugambye nti: Mazima ffe tuli kikemo gy'oli, tokaafuwala
الثامن: مظاهـرة المشـركين ومعاونتهـم على المسـلمين،
Okwolesa n'okuyamba ku bakaafiiri – mu nnyamba yonna - okulwanyisa oba okunyigiriza Abasiraamu. Akikola akaafuwala
والدليل قوله تعالى: ﭽ ﭑ ﭟ ﭠ ﭡ ﭢ ﭣﭤ ﭥ ﭦ ﭧ ﭨ ﭩ ﭪ ﭫ ﭼ المائدة: ٥١
N'obujulizi kwekyo kyekigambo kya Allah ekigamba nti: {Era omuntu yenna mummwe abafuula bakwano be nfiirabulago, ddala aba wa mu bo. Mazima Allah talungamya kibiina ky'abalyazaamaanya}
وقوله ﭨ ﭽ فَإِن لَّمۡ يَسۡتَجِيبُواْ لَكَ فَٱعۡلَمۡ أَنَّمَا يَتَّبِعُونَ أَهۡوَآءَهُمۡۚ وَمَنۡ أَضَلُّ مِمَّنِ ٱتَّبَعَ هَوَىٰهُ بِغَيۡرِ هُدٗى مِّنَ ٱللَّهِۚ إِنَّ ٱللَّهَ لَا يَهۡدِي ٱلۡقَوۡمَ ٱلظَّٰلِمِينَ ﭼ القصص: ٥٠
N'ekigambo kya Allah ekigamba nti: Bwe baba nga tebakuzzeemu, olwo manya nti mazima bo bagoberera bwagazi bwabwe. Ani omubuze okusinga oyo agoberera obwagazi bwe awatali bulunngamu buva eri Katonda? Mazima Katonda talunngamya kibiina ky'abalwazaamaanyi.
التاسع: من اعتقد أن بعض الناس يسعه الخروج عن شريعة محمد صلى الله عليه وسلم كما وسع الخضر الخروج عن شريعة موسى عليه السلام فهو كافر؛
Omuntu akkiriza nti tewali mutawaana abantu abamu okuva mu Busiraamu ne babeera mu nzikiriza endala naye aba mukaafiiri. (Ng'abazadde abawa abaana baabwe eddembe okwesalirawo eddiini gye baagadde okusoma oba abantu abagamba nti amadiini gonna matuufu mbu anti fenna tusinza Katonda omu oba abafumbiza bawala baabwe abasajja abakaafiiri n'abalala ababafaanana)
لقوله ﭨ ﭽ ﭯ ﭰ ﭱ ﭲ ﭳ ﭴ ﭵ ﭶ ﭷ ﭸ ﭹ ﭺ ﭻ ﭼ ﭼ آل عمران: ٨٥
Olwekigambo kya Allah ekigamba nti: {N'omuntu yenna eyeegwanyiza eddiini etali Busiraamu, Allah tagenda kujikkiriza era ku nkomerero agenda kuba mw'abo abafaafaaganiddwa}
العاشر: الإعراض عن دين الله، لا يتعلمـه ولا يعمـل به؛
Okwesamba eddiini ya Allah I; n'agaana okugisoma wadde okugikolerako
والدليل قوله ﭨ ﭽ وَمَنْ أَظْلَمُ مِمَّن ذُكِّرَ بِآيَاتِ رَبِّهِ ثُمَّ أَعْرَضَ عَنْهَا ۚ إِنَّا مِنَ الْمُجْرِمِينَ مُنتَقِمُونَ ﭼ السجدة: ٢٢
N'obujulizi kwekyo kyekigambo kya Allah ekigamba nti: {Mulyazaamaanya ki asinga oyo gwe bajjukiza amateeka g'Omulezi we n'agakuba amabega? Mazima tujja kuwoolera ku ba kyewaggula}
ولا فرق في جميع هذه النواقض بين الهازل والجاد والخائف، إلا المكره، وكلها من أعظم ما يكون خطراً، وأكثر ما يكون وقوعاً. فينبغي للمسلم أن يحذرها، ويخاف منها على نفسه، نعوذ بالله من موجبات غضبه، وأليم عقابه، وصلى الله على خير خلقه محمد وآله وصحبه وسلم. انتهى كلامه رحمه الله.
Okukaafuwala kw'oyo agudde mu bintu ebyo ekkumi ebimenyeddwa tekusosola oyo abiguddemu ng'asaagirira, oba abiguddemu ng'abitegeeza oba olw'obutiitiizi.Awonaokukaafuwala y'oyo yekka gwe bakase obukasi n'akikola nga teyeesiimidde. Ebintu ebyo ekkumi era, bye bisinga okuba eby'obulabe n'okuba nti abantu bye basinga okugwamu. N'olwekyo kigwanidde Omusiraamu okubyewala n'okubitya eri omwoyo gwe, Tusaba Allah atutaase ebyo ebitukakasaako obusungu bwe n'ebibonerezo bye ebiruma .
Nsaba Allah asse okusaasira kwe eri oyo asinga ebitonde bwe Muhammad (s.a.w) nabantu be nebaswahaaba be. Ebigambo bye bikomye awo. Allah amusaasire
ويدخل في القسم الرابع: من اعتقد أن الأنظمة والقوانين التي يسنها الناس، أفضل من شريعة الإسلام، أو أنها مساوية لها، أو أنه يجوز التحاكم إليها، ولو اعتقد أن الحكم بالشريعة أفضل، أو أن نظام الإسلام لا يصلح تطبيقه في القرن العشرين، أو أنه كان سبباً في تخلف المسلمين، أو أنه يحصر في علاقة المرء بربه دون أن يتدخل في شؤون الحياة الأخرى.
Mu nsonga ey'okuna, mu ebyo bye tulabye ebiggya omuntu mu Busiraamu, mwe mugwa abantu abakkiriza nti zi ssemateekaezikolebwa abantu (constitutions), zisinga (oba zenkana) ennamula y'Obusiraamu Oba nti enteekateeka y'ennamula y'Obusiraamu tetuukana na kyasa kino ekya abiri! Oba nti enteekateeka y'Obusiraamu y'ensonga evaako Abasiraamu okusigalira emabega. Oba nti enteekateeka y'Obusiraamu ekoma ku nkolagana y'omuntu ne Katonda we naye tegwanidde kuyingizibwa mu mbeera z'obulamu ezisigadde (ng'ez'ebyobufuzi, eby'enfuna, obulamuzi n'ebirala).
ويدخل في الرابع: أيضاً من يرى أن إنفاذ حكم الله في قطع يد السارق، أو رجم الزاني المحصن لا يناسب العصر الحاضر.
Era mu bakaafuwala wansi w'ensonga eyookuna gye tulabye, be bantu abalaba nti okuteeka mu nkola ennamula ya Allah ng'eyokutemako omukono gw'omubbi, oba okussa omwenzi omufumbo amayinja tebigwanira ku mulembe guno.
ويدخل في ذلك أيضاً : كل من اعتقد أنه يجوز الحكم بغير شريعة الله في المعاملات، أو الحدود، أو غيرهما، وإن لم يعتقد أن ذلك أفضل من حكم الشريعة، لأنه بذلك يكون قد استباح ما حرم الله إجماعاً، وكل من استباح ما حرّمه الله مما هو معلوم من الدين بالضرورة، كالزنا ، والخمر، والربا، والحكم بغير شريعة الله فهو كافر بإجماع المسلمين
Era mu nsonga eyo eyookuna, muyingiramu Abo bonna abakkiriza nti kikkirizibwa okulamuza ennamula etali ya Allah mu nkolagana z'abantu wakati waabwe, oba mu kubonereza abamenyi b'amateeka, oba embeera endala ezitali ezo ebbiri ne bw'aba ng'omuntu oyo akkiriza nti ennamula ya Allah ﷻ esinga ennamula ezo obulungi. Anti bw'akkiriza nti kikkirizibwa okulamuza ennamula etali ya Allah wadde akkiriza nti eya Allah y'esinga, aba akkirizza okukolebwa kw'ekintu Allah kye yaziyiza okukolebwa n'Abasiraamu ne beegatta ku kuziyizibwa kwakyo. Ate nga buli akkiriza okukolebwa kw'ekyo Allah I kye yaziyiza mu ebyo ebimanyiddwa mu ddiini olw'empaka, ng'obutakkirizibwa bw'obwenzi, okunywa omwenge, okulya rriba, okulamuza ekitali nnamula ya Allah aba mukaafiiri eyeegattibwako Abasiraamu bonna nti mukaafiiri.
ونسأل الله أن يوفقنا جميعاً لما يرضيه، وأن يهدينا وجميع المسلمين صراطه المستقيم إنه سميع قريب، وصلى الله وسلم على نبينا محمد، وآله وصحبه.
Tusaba Allah atwanguyize fenna eri buli kyayagala era kyasiima, era atulungamya n'abasiraamu bonna eri ekkubo lye eggolokofu kubanga ye - Allah- ali kumpi era awulira Era n'okusaasira n'emirembe bibeere ku asinga ebitonde byonna obulungi – Omubaka Muhammad – n'abantu b'ennyumba ye ne ba Sswahaaba be bonna.